TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeerimbika mu banene n'abba abantu mukwate

Abadde yeerimbika mu banene n'abba abantu mukwate

Added 23rd February 2018

POLIISI ekutte omuvubuka abadde yeerimbika mu byokwerinda n’okweyita owooluganda lw’abantu ababa bategese emikolo n’ekigendererwa ky’okubba.

 Ekifaananyi Matovu (ku kkono) ky’abadde alaga abantu ng’ali ne Minisita Katumba Wamala oluvannyuma n’ababba.

Ekifaananyi Matovu (ku kkono) ky’abadde alaga abantu ng’ali ne Minisita Katumba Wamala oluvannyuma n’ababba.

Abasinga e Kawempe babadde bamanyi nti akolagana n’ebitongole ebikuumaddembe okuli poliisi, CMI n’ebirala ng’era okubakakasa nti ali mu byakwerinda alina ebifaananyi ebyenjawulo bye baamugatta ne minisita Katumba Wamala by’abadde agenda atambuza mu bantu ng’abagamba bw’ali omunene.

Hamza Matovu mutuuze mu Ddobbi zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ng’era ebiseera ebimu abadde yeeyita muteeguya ssente olw’obubaga bw’abadde akolera mikwano gye.

Wabula ku luno byamutabuseeko bwe yakwatiddwa poliisi y’e Kisubi oluvannyuma lwa famire emu okumulumiriza bwe yababbyeko laptop, essimu n’emitwalo 25.

Famire eno yategeezezza nti baabadde n’akabaga k’amatikkira Matovu kwe yabadde ng’era baabadde bamanyi ali ku ludda lw’abakubi b’ebifaananyi kuba obwedda alaga abamanyi.

Oluvannyuma yatandise okuyamba ku bannaddiini ne balowoozza nti muntu mutuufu wabula ng’ekigendererwa kye ky’abadde kya kubba era olwamalirizza n’adduka.

Matovu baamukutte ku Ssande ng’agenze ku mukolo gw’embaga ogwabadde okumpi n’amaka gano.

Olw’okuba aba famire baabadde bamwetegerezza ne batemya ku poliisi y’e Kisubi n’emukwata n’akkiriza emisango gy’okubba era n’asasula essimu.

Omu ku baserikale ku poliisi y’e Kisubi yategeezezza nti Matovu okuva obuto azze yeenyigira mu bumenyi bw’amateeka e Ntebe ng’era poliisi y’e Ntebe ezze emusiba nga lumu olw’okuba yali akyali muto mu myaka yakwatibwa poliisi n’emutwala e Kampiringisa gye yadduka okutuusa lwe yasenguka mu kitundu n’addukira ku Kaleerwe.

Matovu yakulembeddemu abaserikale ne bakwatagana ne poliisi y’oku Kaleerwe n’agitwala gy’asula ne ku kaduuka akatunda ebintu ebyenjawulo okuli ebyamasannyalaze n’ebirala ng’ebimu poliisi yabitutte.

Abaserikale ku poliisi y’oku Kaleerwe baategeezezza nti omwaka oguwedde Matovu alina abakazi be yabba ssente n’essimu ne bamuloopa ng’emisango yagikkiriza n’asasula.

Mukyala we Irene Kisakye eyasangiddwa ku muzigo we basula yategeezezza nti yeewuunyizza okuwulira nti bba yabbye kuba yamugamba nti akola ku Garden City ng’akebera abantu abayingira.

“Sibyangu kuba nze omusajja wange mwagala era mbadde simanyi nti mubbi naye bw’anaayimbulwa nja kwogera naye mubuulirire abiveemu tufune omulimu akole naye nsuubira bamuwaayiriza, ” Kisakye bwe yategeezezza.

Abatuuze b’omu kitundu Matovu mw’asula omusango baagutadde ku bannannyini mayumba ne LC abatafaayo kubuuza basenze bapya bibakwatako kuba Matovu yava Ntebe nga mubbi n’addukira ku Kaleerwe n’asigala ng’akola omulimu gwe gumu.

Oluvannyuma Matovu yaggyiddwa ku poliisi y’e Kisubi n’atwalibwa ku y’e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...