
Museveni ng'ayogerera mu lukung'aana lw'amawanga ga East Afrika
Museveni era awagidde eky’amawanga g’omukago gw’obuvanjuba bwa Africa okuli Uganda, Kenya, Rwanda, Tanzania, Burundi ne South Sudan okussibwamu ekkolero ly’emmottoka kitangire okuleetamu emigangatika gy’emmottoka n'okukendeeza ku musimbi ogusasaanyizibwa okuzigula mu mawanga g'e Bunaayira.
Bino bibadde mu lukung’ana lw’abakulembeze b’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa olukomekkerezeddwa e Munyonyo mu Kampala mwe bayogeredde ku nsonga ezitali zimu ezikwata ku kwegatta kw’ago n’enkulaakulana.
Abakulembeze b’amawanga gano bonna basembye gafune ekkolero ly’emmottoka kitangire okuleetamu emmottoka enkadde.
Ng’alambulula obulungi obuli mu kwegatta kw’amawanga gano, Museveni agambye kiyamba okufuna obutale bw’ebikolebwa n’okutumbula obusuubuzi, okunyweza eby’okwerinda n’okuyamba abantu abalina eby’obuwangwa ebifaanagana okuba awamu.
Ayongeddeko nti okwegatta kuyamba amawanga okukuuma n’okulabirira awamu eby’obuggagga byago ebigagatta okugeza ennyanja nga Nalubaale, emigga nga Kagera ne Kiyira (Nile), ensozi n’ebirala.
Awadde eky’okulabirako nti omugga Kagera gujjudde ettaka ng’okutereeza kyetaaga enkolagana y’amawanga mweguyita, kwe kutegeeza nti Africa egenda kubaamu abantu obuwumbi bubiri n’ekitundu omwaka 2050 we gunaatuukira.
Abeetabye mu lukiiko basembye Somalia yeegatte ku mukago era bakkiriziganyizza okukola Konsityusoni eneesinzirwako okukolerako federo ya East Africa.
Mu kino buli ggwanga ligenda kulonda abakugu mu bya Konsityusoni batandike entegeka z’okugibaga.