TOP

Tanga Odoi aweereddwa nsalessale

Added 24th February 2018

Tanga Odoi aweereddwa nsalessale

 Dr. Tanga Odoi

Dr. Tanga Odoi

SSENTEBE w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi agudde ku kyokya olw’okujerega Ssaabawandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lumumba, bassentebe ba NRM bwe bamuwadde ennaku bbiri zokka amwetondere oba ssi ekyo bamuwalirize okulekulira. Kasule Lumumba naye azizza omuliro n’amulabula amuggyeko olunderebu kuba by’akoledde ekibiina ebirabika bingi n’amuwa amagezi nti bw’aba tamumatira wa ddembe ensonga okuzitwala ewa ssentebe w’ekibiina Pulezidenti Museveni.

Bino biddiridde Dr. Tanga Odoi okulengezza mukama we Kasule Lumumba nti talina ky’asobola mu kuddukanya ekibiina n’agamba nti, ekinene ennyo ky’asobola kwe kuzina amazina n’asikiriza abalonzi okuwa aba NRM obululu. N’ayongerako nti, Lumumba teyagenda wala nnyo na misomo gy’amattendero ga waggulu nga ye (Odoi).

Kyokka Lumumba yagambye: “Agidde atandike okulaba bwe nnyeenya ekiwato n’okwogera ku liipu sitiiki wange ayise ejjinda we likoma.’’ Yategeezezza ng’asinziira ku leediyo ya FM mu Kampala nti Dr. Tanga Odoi ayitiridde okumusojja ku luwonzi nga talina kirungi ky’amulabako bukya atandika kukulembera kibiina kwe kumusoomooza ensonga azitwale ewa Pulezidenti Museveni bw’aba tamatira by’akola. N’ayongerako nti, wadde Odoi amujerega ye yeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti enfunda eziwera nga buli mulundi ayitawo ye (Odoi) obwamulema.

Bassentebe ba NRM abeegattira mu kibiina kya ‘NRM District Chairpersons Forum’ baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire e Lugogo ku Lwokuna nabo ne bennyamira olw’eneeyisa Tanga Odoi. Era Haji Twaha Sewava Sonko, ssentebe wa NRM e Kalungu era akulira bassentebe bonna mu ggwanga yategeezezza nti, Tanga alina okukitegeera nti, Lumumba mukama we gw’alina okussaamu ekitiibwa.

N’agamba, “Tulangiridde okuva leero tetugenda kuddamu kukolagana na Tanga Odoi. Ffe bakama be era mu kiseera kino nga tulinda okwetonda kwe mu nnaku bbiri ayinza okukitwala nti tumugobye era tetumumanyi”, Sonko bwe yagambye. Kabakumba Masiko ssentebe wa NRM e Masindi yagambye nti, Odoi atuula ku lukiiko lw’ekibiina olw’oku ntikko olwa, ‘Central Executive Committee’’ ne Lumumba lw’atuulako. Yeebuuzizza lwaki Tanga ensonga ze tazitwala mu bakulu mu kifo ky’okwanika obuziina bwe mu lujjudde.

Olukiiko lwetabyemu bassentebe okwabadde; Hajati Madina Nahabwe ow’e Koboko, John Bosco Lubyayi ow’e Mpigi, Necrous Arinaitwe ow’e Nakawa, Salim Uhuru wa masekkati ga Kampala ne Hajji Abu-Bakr Walubya ssentebe wa NRM mu ttundutundu ly’e Busoga n’balala. Walubya yategeezezza nga bwe batakyayinza kukkiriza Tanga kulinnya kigere Busoga olw’okulengezza muwala waabwe. “Okwetonda kwe tukulinze nga Busoga ne NRM erayeetondere ne Lumumba gwe yalengezezza.” Salim Uhuru yagambye nti ebigambo bya Tanga bityoboola abakyala ne NRM n’amusaba yeddeko.

Bassentebe baategeezezza nti bamaze okuwandiikira Pulezidenti Museveni nga beemulugunya ku nneeyisa ya Tanga ne bamulaga n’obuzibu bw’ayinza okuleeta mu kibiina. Obutakkaanya bwa Tanga Odoi ne Lumumba bwasajjuka ku Lwokubiri oluvannyuma lwa Lumumba okulangirira nga bw’agobye abakozi b’ekibiina abasoba mu 400 ababadde bakolera ku kitebe ne mu disitulikiti n’ab’akakiiko k’ebyokulonda aka NRM.

Tanga yayanukula Lumumba n’obukambwe nti tewali mukozi wa kakiiko ka byakulonda agenda kuwummuzibwa nga Lumumba bwe yali alangiridde. Dr. Tanga Odoi Lumumba Kasule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...