TOP

Abraham Luzzi awangudde omusango gwa zaabu e Dubai

Added 24th February 2018

Omugagga Abraham Luzzi amanyiddwa nga Mr. Economy agudde mu bintu, bw’awangudde omusango gwa zaabu ogwamuggulwako e Dubai kati ayagala kumuliyirira buwumbi

 Abraham Luzzi eyakadda okuva e Dubai

Abraham Luzzi eyakadda okuva e Dubai

Bya Musasi wa Bukedde.

Omugagga Abraham Luzzi agudde mu bintu, bw’awangudde omusango gwa zaabu e Dubai  kati ayagala kumuliyirira buwumbi.

Luzzi amanyiddwa nga Mr. Economy owa African Business Council ne Ssebo International Group asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lwa  kkooti e Dubai okumwejjeereza omusango gw’okukukusa zaabu ogwali gumugguddwaako ku fayiro nnamba 17208/7.

Ono amaze ebbanga nga tali mu ggwanga kyokka twamuguddeko ku ofiisi ze e Kabalagala  n’ategeeza nti abadde Dubai ng’amaliriza nsonga za musango guno.

Abraham Luzzi mu nnyonyi e Dubai

“Allah wa maanyi  omusango naguwangudde era ndi musanyufu  kkooti yalagidde banzirize emmaali yange (zzaabu taani 1.5),  akawunti yange ey’e Dubai eyali eteereddwaako envumbo nga kuliko  ssente z’e Dubai obukadde 15 balagidde eggyibweko ssaako ebbaluwa (layisinsi) ezinzikiriza okusuubula zaabu n’ebyobugagga by’omu ttaka ebirala okumala emyaka 6.”

Bamusibira mu kkomera lye limu omuli Mbuga.

Luzzi agamba baamusiba January 15, 2017 mu kkomera lya Al Awir Central Jail, omugagga SK Mbuga mw’ali kati  era eno yaavayonga July 24 oluvannyuma lwa kkooti okumwejjeereza omusango.

Zaabu nnali mutwala Switzerland ne bamukwatira e Dubai nga bagamba nti waliwo empapula z’omusolo ze saalina.

SK Mbuga (ku kkono) ne Abraham Luzzi gyebuvuddeko nga bali e Dubai

 “Zaabu okusinga tumuggya Congo kyokka okumutambuza osasula emisolo egiweerako era weetaga ebiwandiiko eby’enjawulo okugeza okuva mu UN ne mu kitongole kya Dubai eky’omusolo olumu ekitali kyangu.

“Zaabu ono era anoonyerezebwako nnyo okukakasa nti tewenyigira mu bizinensi eno mu bukyamu, tolina nteekateeka za kuwagira bayeekera naddala e Congo olw’obukuubagano obuliyo”

Nga zaabu wange bamukutte nafuna obuzibu n’Abazungu be nnali mutwalira nga balowooza mbafe-eze kyokka nga waliwo buzibu era ndowooza ne Mbuga ayinza okuba yafuna obuzibu bwe bumu kubanga simumanyi mu bantu ababbi oba abafere oyo Omuzungu amubanja alina kugumamu.

Abraham Luzzi ng'alaga kaddi za 'airtime' gwe yaakozesanga ng'ali mu kkomera

 

Luzzi obwedda ayogera bw’alaga ebimu ku bintu omuli kaddi za ‘airtime’ n’obutabo bwe yava nabyo mu kkomera .

Yagambye nti wadde ekkomera lya Al Awir Central Jail mwe baamusibira lye limu ku gasinga okuba ag’obulabe mu United Arab Emirates kubanga y’eggalirwa abantu ab’omutawaana, kuliko ko ekitundu esibirwa abaloodi Mbuga mw’ali era agamba nti alina essuubi nti agenda kuvaayo nga naye bwe yasobola okuvaayo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...