TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro atenderezza Ssaabasumba ku nsonga za Buganda

Katikkiro atenderezza Ssaabasumba ku nsonga za Buganda

Added 24th February 2018

Katikkiro atenderezza Ssaabasumba ku nsonga za Buganda

Katikkiro ng'asika Ssaabasumba mu mukono.

Katikkiro ng'asika Ssaabasumba mu mukono.

KABAKA asabye Klezia eyongere amaanyi mu nteekateeka ezigenderera okutumbula enkulaakulana mu Buganda era Obwakabaka bwetegefu okugikwatizaako mu ngeri yonna esoboka okulaba ng’abantu babeera mu bulamu obweyagaza ng’ate bwe batendereza Omutonzi waabwe.

Obubaka buno bwaweereddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okujjukira ensisinkano ya Ssekabaka Muteesa I n’Omuminsane Fr. Simeon Lourdel Mapeera ku Lwokuna February 22, 2018 mu Lutikko e Lubaga.

“Kabaka ayagala enkulaakulana yeeyongere mu Buganda era asaba Klezia ebeere kitundu egende mu maaso ng’etwala enkulaakulana gy'ezze ekola bukya etandika mirimu kuno kubanga bw’otunuulira embeera mwe tuli, Klezia ekoze ebintu bingi ebikyusizza obulamu bw’abantu b’eggwanga lino okuli ebyenjigiriza, amalwaliro kyokka ekikulu olw’enkolagana y’enjuyi zombi, ettaka erisinga klezia kw’ekolera lyaweebwayo Kabaka,” Mayiga bwe yayogedde eri Abakristu.

Ensisinkano eno yaliwo February 23,1879 mu Lubiri lwa Muteesa I nga lwali Lubaga mu kifo kyennyini awatudde Lutikko. Omukolo gwajjukiddwa wansi w’Omulamwa “Eklezia Katolika n’Obwakabaka bwa Buganda 1879-2018:Tukwatire wamu mu kuweereza abantu ba Katonda” bwatyo Mayiga n’ategeeza nti ebigendererwa by’Obwakabaka ne Klezia bye bimu era ne yeebaza Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga olw’okuvangayo ku buli nsonga ezinyiga Obwakabaka. “Ku lw’Obwakabaka nneebaza Ssaabasumba Lwanga olw’okuvangayo ku nsonga enkulu ezinyiga Buganda ate n’okwagala Kabaka we ng’Omusajja eyeddira emmamba.

Nneebaza Ssaabasumba n’abamuyambako olw’okubbula ekaddiyizo lya Klezia mu Ssekabaka Muteesa I,” Mayiga bwe yeebazizza Ssaabasumba. Ye Dr. Lwanga yategeezezza nti enkolagana wakati wa Klezia n’Obwakabaka ezze yeeyolekera mu bintu bingi bwatyo n’atendereza Muteesa I olw’okukkiriza Klezia okutandika okubuulira enjiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku baddusi nga boogera n'abaserikale. (Ekif. Ddamba Tadeo)

Poliisi eremesezza ab'e Kir...

Poliisi mu Kira Municipality eremesezza abantu abaabadde bakedde okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja...

Mukyala wa Lukwago n'abaana baabwe.

Omusuubuzi w'e Bugoloobi ey...

ABOOLUGANDA lwa Martin Lukwago omu ku basuubuzi mu katale k'e Bugoloobi abaakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda...

Abantu nga bakonkomalidde awaagudde ekimotoka.

Balaajanidde poliisi ku loo...

Abatuuze b'e Luseera - Kateera e Kiboga balaajana olw'ekimotoka ekizibye ekkubo lyabwe nga kati kimaze wiiki nnamba...

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekku...

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa...

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

Batidde bazadde ba Lukwago ...

ABOOLUGANDA lwa Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago abaasangiddwa e Kabungo mu ggombolola y'e Kyamuliibwa e Kalungu...