TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekubye amasasi ne ttiyagaasi okutaasa gwe balumiriza okuba n'ebyokoola

Poliisi ekubye amasasi ne ttiyagaasi okutaasa gwe balumiriza okuba n'ebyokoola

Added 25th February 2018

Poliisi ekubye amasasi ne ttiyagaasi okutaasa gwe balumiriza okuba n’ebyokoola

 Poliisi ng’esobeddwa olw’abantu abaabadde bacankalanye kyokka oluvannyuma baabakubyemu ttiyagaasi ne bagumbulukuka.

Poliisi ng’esobeddwa olw’abantu abaabadde bacankalanye kyokka oluvannyuma baabakubyemu ttiyagaasi ne bagumbulukuka.

ABATUUZE b’e Kiwologoma, Kitukutwe, Nsasa, Bulindo beecwacwanye ne bakuba poliisi amayinja nayo n’ebaddiza ttiyagaasi n’okukuba amasasi mu bbanga n’ebagumbulula bwe baalumbye amaka ga munnaabwe nga baagala okumugoba ku kyalo olw’ebyokoola. Balumiriza omusuubuzi Akireewo Bogere okuleeta ebyokoola ebyavuddeko mutuuze munnaabwe okufa.

Bano baasoose kukuba lukuhhaana e Kiwologoma ku muzikiti gwa ssentebe w’ekyalo, Haji Ahmed Bbaale, omuserikale atwala poliisi y’e Kiwologoma n’abaluhhamya ku kirina okukolebwa. Abatuuze baabadde baleese omusawo waabwe wabula OC n’abagamba nti okukwata ge baayise ‘amayembe’ balina okusooka okufuna olukusa okuva eri omusawo wa disitulikiti ow’ekinnansi kye bataakoze era omusawo waabwe n’asooka agaanibwa ekyabataanudde. Baatandise okukuba poliisi amayinja n’emiggo olwo nayo n’ebakubamu ttiyaggaasi n’amasasi era omusawo yalabye bitabuse n’adduka.

Abatuuze baayongedde okutabuka ne balumba amaka ga Bogere ag’e Kiwologoma, n’edduuka eryebizimbisibwa nga babikasuukirira amayinja, poliisi n’ebagumbulula n’eddusa Bogere ne famire ye.

Baayongedde okutabuka ne poliisi ne baziba n’amakubo. Bino biddiridde omutuuze Tonny Kiggundu Gazebo mukwano gwa Bogere okufa ku Lwokusatu mu ngeri abantu gye bataamatidde. Baategeezezza nti yakedde ku makya nga mulamu bulungi n’agenda okutikka bbulooka, wabula aba akyatikka amaanyi ne gamuggwaamu n’agwa n’akutukirawo, abantu olunwe ne balusonga mu Bogere nti y’amusse.

Omutuuze Sharif Kalibbala yategeezezza nti Bogere baamugoba e Nsasa gye yali abeera lwa mayembe n’addukira e Kiwologoma era abantu baludde nga bamwemulugunyaako. Ate Nelson Mugisha naye omutuuze yagambye nti abantu baakafa mukaaga ku kitundu ng’era basonga mu Bogere.

Aduumira poliisi mu Kira Division, Shifah Kiriibwa yakkakkkanyizza abatuuze n’abasuubiza okuleeta omusawo okuva ku disitulikiti anaabayamba okutereeza embeera eno era n’abasaba baleme kutwalira mateeka mu ngalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...