TOP

Nja kugoba abaserikale aboolugambo - Kayihura

Added 25th February 2018

Nja kugoba abaserikale aboolugambo - Kayihura

 Gen. Kayihura ng’awuliriza omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima eyabaddeko ne by’amunnyonnyola.

Gen. Kayihura ng’awuliriza omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima eyabaddeko ne by’amunnyonnyola.

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ayisizza ekiragiro ekikugira abaserikale ababotola n’okusomola ebyama bya poliisi n’okuwa amawulire eri ebitongole byokwerinda ebirala nga tamanyi.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga February 21, 2017 nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura, yalabudde abaserikale okukomya okwekobaana ne bayitibwa ebitongole byokwerinda ebirala ne babotola ebyama bya poliisi nga tebafunye lukusa ky’agamba nti kuno kuba kumuyisaamu maaso ng’omuduumizi wa poliisi n’abakulira ebitongole eby’enjawulo mu poliisi yonna.

“Kizuuliddwa nti waliwo abaserikale abeekobaana ku lwabwe oba nga bayitiddwa ebitongole byokwerinda ebirala okubaako bye bannyonnyola kyokka ne bava ku mulamwa ne babotola ebyama bya poliisi nga tebafunye lukusa okuva mu bakulira poliisi yonna era abakikola mujja kukangavvulwa,” Gen. Kayihura bwe yalabudde. Kayihura okuvaayo kiddiridde okufuna amawulire nga bwe waliwo abaserikale abamu abeekobaana ne beetwala mu bitongole byokwerinda ebirala ne boogera ebyama n’ebintu poliisi by’egenda okukolako ng’okunoonyereza ku misango n’ebikwata ku bukessi.

Yagambye nti abaserikale bonna balina okuteeka mu nkola ebirayiro bye baakuba nga bayingira poliisi n’ebyo bye beeyama okukuuma ebyama kuba akola kino aba amenya amateeka agafuga omuserikale.

Yategeezezza nti omuserikale yenna anaagenda mu maaso n’okumenya ebiragiro by’abawadde waakukangavvula era n’alagira ababadde beenyigira mu bikolwa bino okubikomya bunnambiro. Yalagidde badayirekita bonna, abakulira ebitongole, n’abaduumizi ku madaala ag’enjawulo mu poliisi okulaba ng’ekiragiro kye yawadde kiteekebwa mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Lubanga nga kukomezebwawo awaka. Ku ddyo, ye Ssendi eyasse kitaawe

Akubye kitaawe akakumbi ku ...

OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku...

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...