TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Shiekh Ssonko gwe baalaalika okutta bamuttidde omwana!

Shiekh Ssonko gwe baalaalika okutta bamuttidde omwana!

Added 26th February 2018

SHIEKH Najib Ssonko, omu ku bamaseeka abaali ku lukalala lw’abakulembeze b’Abasiraamu abaalaliikibwa okuttibwa, bamuttidde omwana we omulenzi omukulu ddala mu ntiisa!

Sheikh Ssonko mu kusaalira mutabani we Hakim eyatiddwa.

Sheikh Ssonko mu kusaalira mutabani we Hakim eyatiddwa.

Hakim Ssonko 26, yakubiddwa ekitiiyo ku mitwe e Kasubi Nabulagala ku Lwomukaaga, n’afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro e Mmengo.

Yattiddwa omu ku bavubuka abaabadde bagogola omwala nga basibye akaguwa mu kkubo okusolooza ssente ez’ekimpatiira ku bantu bakira abayitawo.

Mutabani wa Ssonko olwatuseewo, abalenzi ne bamusaba 500/- oba ssi ekyo naye akwate enkumbi abeegatteko kyokka n’abategeeza nti talinaawo ssente n’obudde obw’okugogola omwala tabulina kubanga yabaddeko ensonga enkulu z’aliko.

Wabula abalenzi baamwezinzeeko ne wabaawo akanyoolegano okukkakkana ng’omuvubuka Ronald Katwere akutte ekitiiyo n’akikuba Hakim ku mutwe n’aggwa ku ttaka n’azirika, Katwere n’amalamu omusolo.

Omu ku baabaddewo kyokka nga yasabye amannya ge obutayatuukirizibwa yannyonnyodde nti Katwere yakedde n’abavubuka abalala n’asiba ekkubo nga beefudde abagogola omwala era ng’eno bwe basolooza ssente era nti eyo ebadde nkola yaabwe.

Olwo zaabadde mu ssaawa nga 4:00 ez’oku makya, Hakim kwe kusanga Katwere ne banne.

Bwe yamukubye teyavuddemu wadde omusaayi wabula ng’ali bubi abazirakisa ne bamuyoolayoola okumutwala ku kiriniki okumpi wabula embeera bwe yeeyongedde okuba obubi ne bamwogerauyo Mmengo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo n’atabukira ddala n’afa nga baakamutuusaayo Wadde ng’emisana lyonna Katwere yabaddewo ku kyalo, olwategedde nti Hakim akutuse n’adduka ku kyalo ne nnyina era we twatuukidde awaka waabwe ku Luzzi Zone nga waggale, baliraanwa baabwe ne bantegeeza nti badduse ku kyalo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeeza nti Poliisi yatandikiddewo omuyiggo gw’okukwata Katwere.

Yasabye aba famire ya Ssonko n’abatuuze babe bakkakkamu kuba poliisi ekola kyonna ekisoboka okulaba nga Katwere bamukwata.

Abooluganda lwa Ssonko baggye omulambo gwa Hakim mu ddwaaliro ne bagutwala mu maka ga kitaawe e Nabulagala abantu gye baakuhhaanidde.

Kyokka poliisi okuva e Lugala yatuuse omulambo n’egubaggyako wakati mu kuwanyisiganya ebisongovu n’abenganda ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Aba famire baabadde bagamba nti tewali kyetaagisa kunonyereza kubanga eyasse omwana bamumanyi nga poliisi gw’erina okunoonya.

Omulambo gwaggyiddwa e Mulago ku ssaawa nga zigenda mu 1:00 ey’akawungeezi ne guzzibwa mu maka ga kitaawe e Nabulagala gye gwasuze okutuusa ku Ssande lwe gwatwaliddwa ku muzikiti gwa Masigid Dar Talim Al Islam Kampala Lubaga okugusaalira.

Okusaalirwa kwakulembeddwaamu Imaam w’omuzikiti guno, Sheikh Sudik Ndawula nga kwetabiddwaako n’amyuka Supreme Mufti, Sheikh Muhamood Kibaate.

Kibaate yasaasidde Sheikh Ssonko olw’okufiirwa omwana omukulu bwatyo mu bukambwe kyokka n’amutendereza olw’obugumiikiriza bwe yalaze oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okutemulwa kw’omwana we.

Shiekh Kibaate yategeezezza nti we yatuukidde ku Ssonko, ng’eyasoose okutuukawo, abantu ababadde baagala okulumba amaka ga nnyina wa Katwere yakoze kyonna ekisoboka okubakkakkanya nti tewali kye yabadde akifunamu.

Yakubiriza Abasiraamu okufubanga bulijjo okukuuma obugumiikiriza naddala mu biseera by’okugezesebwa.

Yategeezezza nti ekiseera kyalimu kyakugezesebwa naye ensonga nti azikwasiza aboobuyinza.

Ye ssentebe wa LC2 owa Nakulabye, Musa Zimbe, yavumiridde abavubuka abakozesa ebiragalala naddala enjaga.

Yagambye ni okuggyako ng’omuntu alina by’akozesesa tosobola kukuba muntu n’omutta lwa 500!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...