TOP

Gashumba ayongeddwako emisango emirala 12

Added 26th February 2018

OMUWAABI wa gavumenti omukulu aleese emisango emirala 12 ku Frank Gashumba ne muganda we nga kati awamu bavunaanibwa emisango 26.

 Ismail Kiyingi, FRank Gashumba ne Innocent Kasumba mu kkooti gye buvuddeko

Ismail Kiyingi, FRank Gashumba ne Innocent Kasumba mu kkooti gye buvuddeko

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUWAABI wa gavumenti omukulu aleese emisango emirala 12 ku Frank Gashumba ne muganda we nga kati awamu bavunaanibwa emisango 26.

Okusinziira ku nnongosereza eyakoleddwa, Gashumba aguddwako emisango emirala okuli ogwokusangibwa ne sitampu za South Sudan enjingirire okuli eya minisitule y’ebyamateeka, ey’obusuubuzi n’eyebibira.

Gashumba era aguddwako ogwokweyita kyatali bweyalimba nti ye Frank Disans Ssenyondo mutabani wa Joseph Lwandaga ne Teddy Nalwanga gwe baazaala mu 1968 e Namasuba  nga ekiruubirirwa kyali kyakufuna paasipooti mpya.

Emisango emipya gyayanjuddwa omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya eri omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, James Mawanda Ereemye .

 Gashumba ne mugandawe Innocent Kasumba, ne Ismail Kiyingi emisango bagyegaanye .

Bano tebasindikiddwa ku limanda kubanga kkooti yali yakkiriza dda okubeyimirira era nga babadde ku kakalu ka kkooti . Gwo omusango gwongezeddwayo okutuusa nga March 21,2018.

Gashumba okumugulako emisango emipya abadde akyawerenemba n’emikadde nga gyonna gyekuusa ku kyakweyita kyatali, kujingirira nakusangibwa na biragala.

Kigambibwa nti nga  September 12,2017 ku Tulip Hotel, ku Kafu Road Gashumba ne banne baalina  ekigendererwa ky’okubba ba yinvesita okuva e Holland [ Kolgvan Dirutop ne Manu Meerscghman] nabalimba nti ye Col. Francis Okello Director w’ebikozesebwa mu minisitule y’obyokwerinda.

Yavunaanibwa ogw’okujingirira ebiwandiiko nga kigambibwa nti yasangibwa n’endaga muntu za minisitule y’ebyokwerinda eya Uganda ne South Sudan era nasangibwa n’ebiragalagala.

Kuno bamugaseeko ogwokweobaana ne muganda we Innocent Kasumba ne Ismail Kiyingi ne balimba ba yinvesita okubafunira kontulakiti y’okuleetera minisitule y’okwerinda emmotoka ezikozesebwa mu ntalo, ttanka z’amazzi  nga kino baakikola okugezaako okubba ssente era gyonna bagyegaana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...