TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazungu abalala 2 bafudde mu ngeri etetegeerekeka

Abazungu abalala 2 bafudde mu ngeri etetegeerekeka

Added 27th February 2018

ABAZUNGU abalala babiri bafudde mu ngeri etategeerekeka nga kati omuwendo gw’Abazungu abaakafiira mu Uganda omwezi guno gulinnye okutuuka ku bantu mukaaga ekireeseewo okwebuuza ekivaako bino.

 Enju Omuzungu mwe yafiiridde. Ku ddyo ye Mupafasoni.

Enju Omuzungu mwe yafiiridde. Ku ddyo ye Mupafasoni.

Bya ERIA LUYIMBAZI

ABAZUNGU abalala babiri bafudde mu ngeri etategeerekeka nga kati omuwendo gw’Abazungu abaakafiira mu Uganda omwezi guno gulinnye okutuuka ku bantu mukaaga ekireeseewo okwebuuza ekivaako bino.

Abakyasembyeyo kuliko; Has Jurgen Vallant 62 ne Eric Yvomr 54 abazze ng’abalambuzi.

Bano beegasse ku baasooka abana; Nordlarder Axel Andreas 41, Trasvuori Tuomas Juha Petteri 42, Montie Guy Waston 61 ne Rita Charlotte 76, abaafiiridde mu wooteeri ez’enjawulo wakati wa February 5 ne 19, 2018.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yagambye nti Yvomr enzaalwa ya Bubirigi yasangiddwa ng’afiiridde ewa muganzi we e Muyenga nga kiteeberezebwa nti yesse.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Yagambye nti Yvomr eyabadde azze okukyalira mukwano gwe Joseline Mupafasoni munnansi okuva e Burundi abadde apangisa ku 'apartiment' za Vermigo ezisangibwa e Muyenga B.

Yategeezezza nti Mupafasoni yabuulidde poliisi nga Yvomr bwe yesse wabula poliisi omulambo n'egutwala e Mulago okwongera okugwekebejja okuzuulira ddala oba yesse.

Ate Vallant, Omugirimaani yafudde wiiki ewedde bwe yabadde atwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya okufuna obujjanjabi.

Mupafasoni

 

Kayima yagambye nti nga February 21, 2018 Vallant eyali azze okukyalako mu ggwanga alambule ebitundu ebyenjawulo yalumbibwa obulwadde n'addusibwa mu ddwaaliro lya Case kyokka embeera n’etabuka ekyavaako okumuddusa e Nsambya wabula n'afa nga yaakatuusibwayo nga February 23, 2018.

Yategeezezza nti abasawo ba poliisi beekebezze omulambo gwa Vallant ne bakizuula nti yafudde bulwadde bwa mutima.

Bino we bijjidde ng'Abazungu abalala bana baakafa mu wiiki ssatu eziyise. Mu bano kuliko Tersvouri Petteri munnansi w’e Finland eyasangibwa ng’afiiridde mu Pearl of Africa Hotel nga February 8, 2014 , Alex Sebastian Nordlarder munnansi w’e Sweden eyafiira mu Sheraton Hotel abagambibwa okufa olw'okukozesa ebiragala ebyalimu obutwa, Omumerika Guy Watson Montie eyafiira mu Bwana Tebo Camp Lodge e Nwonya ne Rita Sharon okuva e Germany.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....