TOP

Kiki ekyatuuka ku ssente za Hajji Habib Kagimu!

Added 27th February 2018

OMUGAGGA w’omu Kampala Hajji Habib Kagimu naye bimwonoonekedde. Ebyobugagga bye omuli n’amayumba ag’ebbeeyi e Kololo, bbanka ebikutte, ebitunda ku nnyondo lwa mabanja.

 Ennyumba z’e Kiswa nga bwe zifaanana emmanju waazo. Mu katono ye Hajji Habib Kagimu

Ennyumba z’e Kiswa nga bwe zifaanana emmanju waazo. Mu katono ye Hajji Habib Kagimu

Bya AHMED MUKIIBI

OMUGAGGA w’omu Kampala Hajji Habib Kagimu naye bimwonoonekedde. Ebyobugagga bye omuli n’amayumba ag’ebbeeyi e Kololo, bbanka ebikutte, ebitunda ku nnyondo lwa mabanja.

Ebyobugagga bya Kagimu ebirugenda bye bino;

1. Kalina ssatu eziri awamu eziriko amayumba ag’omulembe agapangisibwa (Apartments) nga zisangibwa ku Plot; 114-166 Bunyonyi Drive Kiswa mu munisipaali y’e Nakawa. Zitunudde mu nkambi y’amagye e Mbuya nga zibalirirwamu obuwumbi 10.

2. Ennyumba ey’ebbeeyi e Kololo ku Plot 18 Wampewo Avenue okumpi ne Hotel Africana ng’oyambuka ku kisaawe e Koolo. Ennyumba eno ebalirirwamu obuwumbi nga butaano.

3. Polot y’ettaka ennene mu Kampala ku Plot 1094 Sir Apollo Kaggwa Road ng’eno ebalirirwamu akawumbi kalamba!

Okunoonyereza Bukedde kw’akoze kuzudde ng’ennyumba y’e Kololo eri mu mannya ga Habib Kagimu, ate ez’e Nakawa ziri mu linnya lya kkampuni ya Habib Properties ne Plot y’oku Sir Apollo Kaggwa eri mu linnya lya kkampuni ya Habib Brothers Limited.

Emu ku bbanka ez’amaanyi mu ggwanga ye yeesimbye mu Kagimu okumutundako ebintu bye olw’ebbanja erigambibwa okuba mu ddoola obukadde nga 7 (mu za Uganda obuwumbi 25) ze yeewola kyokka ebbanga ery’okuzizzaayo ne liggwaako nga tannazisasula nga bwe bakkaanya.

Ekikomera ky’ennyumba za Kagimu ezipangisibwa e Kiswa.

 

Bbanka epangisizza kkampuni ya Bannamateeka eya Kampala Associated Advocates (KAA) okubowa ebyobugagga bya Kagimu bye yasingayo.

Okusinziira ku kkampuni ya bawannyondo eya Part Property and Assets Recovery Trust eyapangisiddwa aba KAA okutunda ku nnyondo ebyobugagga bye, Kagimu aweereddwa omwezi gumu gwokka okusasula ssente za bbanka n’amagoba gaakwo oba si ekyo ebintu byakutundibwa ku nnyondo.

BITUNDIBWA MU MARCH

Kkampuni ya bawannyondo eno etaddewo olwa March 19, 2018 okutunda ebintu bya Kagimu singa tasasula ssente zonna ezimubanjibwa n’amagoba ng’olunaku olwo terunnatuuka.

Ng’oggyeeko okulaalika okutunda ebintu bya Kagimu, abapangisa bonna abali mu mayumba agagenda okutundibwa baweereddwa ennaku 14 okuzaamuka oba si ekyo bagenda kuggyibwamu ku kifuba ate nga ssente ez’okubafulumya be bajja okuzisasula.

Abaagala okugula ebintu bya Kagimu baweereddwa amagezi okutuukirira kkampuni ya Part Property and Assets Recovery Trust ebakolere enteekateeka okulambula ebifo ebyo.

Kaweefube wa Bukedde okwogerako ne Hajji Kagimu yagudde butaka nga kigambibwa nti mu kiseera kino ali Malaysia ku bizinensi ze endala.

KAGIMU Y’ANI

1 Kagimu nzaalwa y’e Itendero mu bugwanjuba bwa Uganda.

2 Y’omu ku basajja abalina ssente ezibayitaba. Yasinga kwatiikirira wakati wa 2000 ne 2010 olw’enkolagana ye ey’amaanyi n’eyali Pulezidenti wa Libya omugenzi Col. Muammar Gaddafi gattako ne Pulezidenti Museveni.

3 Ebiseera byo, nga buli Gaddafi lw’akyalako mu Uganda, Kagimu abeera wakati mu bugenyi bwe (Gaddafi) era nga tamuva ku lusegere okumuvvuunulira Olungereza okuluzza mu Luwarabu.

4. Mu biseera ebyo nga bizinensi z’Abalibya zonna eziri mu Uganda omwali National Housing, Uganda Telecom Ltd, Tropical Bank n’endala, Kagimu yazirinamu omukono.

5. Wabula okuva Gaddafi lwe yatemulwa mu October 2011, Kagimu yakosebwamu era bizinensi ze ezimu ne zigwa.

6. Kagimu ye nnannyini kkampuni ya Habib Investments Ltd omwegattira amakampuni ag’enjawulo agali mu bizinensi ez’amafuta, okuzimba n’okuddukanya ebizimbe, amasundiro g’amafuta, eby’amasimu, obulunzi n’ebirala.

Ezimu ku kkampuni ezeegattira mu Habib Investments Ltd kuliko:

  • Landmark Properties Ltd
  • Habib Oil Ltd l United Telecoms Ltd
  • Lubbobbo Ranchers Ltd
  • Range Protective Services Ltd

ABAGAGGA ABALALA ABAFUNYE OBUZIBU NE BBANKA

1 Capt. Joseph Roy Zziwa: Eyali nnannyini kkampuni y’ennyonyi eya DAS Air Cargo, bbanka ya Development Finance Company of Uganda Bank Limited (DFCU) yeesimba mu kizimbe kye ekya Conrad House ku Plot 30 Jinja Road mu Kampala lwa bbanja.

2 Meddie Ssebaggala, eyali nnannyini dduuka ggaggadde ery’ebyamasannyalaze erya Ssebaggala and Sons Electro Centre eryamutwalibwako muggagga munne Sudhir Ruparalia mu 2013.

Bbaka zaasitukira mu byobugagga bye okuli amaka ag’ebbeeyi e Bbunga ku Kyadondo block 250 Plot 514., ennyumba ey’amaka e Kololo ku Plot 31 Mackenzie Vale n’ennyumba e Nsimbiziwome e Bukoto ku Kyadondo Block 216 Plot 1827 lwa bbanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.