TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnannyini kizimbe kya Bamako bamukutte n'enjaga ya kawumbi

Nnannyini kizimbe kya Bamako bamukutte n'enjaga ya kawumbi

Added 28th February 2018

POLIISI ezinzeeko ekizimbe e Namasuba n'ekwata omusajja ali mu kibinja ky’abakukusa enjaga okugiyingiza mu ggwanga n’okugitwala mu mawanga agenjawulo.

 Traore ne Owoyesigyire

Traore ne Owoyesigyire

Bya ERIA LUYIMBAZI

POLIISI ezinzeeko ekizimbe e Namasuba n'ekwata omusajja ali mu kibinja ky’abakukusa enjaga okugiyingiza mu ggwanga n’okugitwala mu mawanga agenjawulo.

Byabaddewo ku Mmande abanoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe bwe baazinzeeko ekizimbe kimanyiddwa nga Bamako Arcade okuliraana Freedom City ne bakwata omusajja Idrissa Traore enzaalwa ye Mali gwe baasanze n’enjaga ezitowa kkiro 7 ebalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde 750.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti okukwata Traore kyaddiridde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi ya Burundi okuwandiikira poliisi eya Uganda oluvannyuma lw'okukwata omusajja Musa Fofona ku kisaawe ky'ennyonyi e Bujumbura eyabadde akukusa enjaga n'alonkoma mukama we eyagimutisse.

Ekizimbe kya Traore e Namasuba.

 

“Poliisi yaggula olutalo ku bakukusa enjaga okugiyingiza n’okugifulumya mu ggwanga era bwe twafunye amawulire okuva mu poliisi ya Burundi nti waliwo eyakwatiddwa ng'agikukusa ate n'ayogera mukama we ng'ali mu Uganda, kwe kusalawo okumunoonya n'akwatibwa” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti abaserikale bwe baagenze e Namasuba, baasanze Traore aliko enjaga gy'akukulidde mu duloowa y’oku mmeeza mu ofiisi ye ate endala yabadde mu kisawo ng'eriko ekisenge mwe bagiggalidde ng'abaserikale baamenye luggi okugiggyayo.

Yagambye nti ensangi zino poliisi efunvubidde okulwanyisa okukukusa enjaga ng'ekolagana ne poliisi z’amawanga ag'enjawulo ng'abagikukusa bwe baba tebayise ku bisaawe bya nnyonyi basala nsalo.

Yategeezezza nti okukukusa enjaga kusinze kwenyigirwamu bannansi b'amawanga ga bugwanjuba bwa Afrika nga ku mulundi guno baabadde bagitwala Mali.

Okukwata Traore baasoose kukwata mukazi Beatrice Isaro okuva e Rwanda ku kisaawe e Ntebe ng'agezaako okukukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 397.

Ate mu October 2017, era Poliisi y'oku kisaawe e Ntebe yakwata omukazi Allen Nankanja ng'akukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 875 okugiggya e Brazil okugireeta mu ggwanga.

Poliisi ng'eraga enjaga eyakwatiddwa

 

Gye buvuddeko omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura yavaayo n'ategeeza nga bwe waliwo obwetaavu okulwanyisa enjaga n’ebiragala ebirala ebyavaako Abazungu babiri okufiira mu wooteeri ya Pearl of Africa e Nakasero ne Sheraton Hotel.

Kayihura era yategeezezza nti ebifo abeenyigira mu kukukusa ebiragala biri nnyo mu bitundu by'e Muyenga, Makindye ne Bunga ne Traore gy'alina amaka.
Owoyesigyire yagambye nti Traore amaze emyaka 20 mu ggwanga era ng'abadde agezaako okusaba paasipooti ya Uganda.

Omusango gwe yagguddwaako guli ku fayiro nnamba CRB 48/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...