
Susan Magara
Aduumira Flying Squad, Herbert Muhangi yagambye nti abantu 11 be baakutte bakyabakunya era baabaawudde ne babasibira mu makomera ag’enjawulo.
Abantu musanvu babakuumira Kireka, abalala babiri bali Old Kampala kw’ossa ababiri abakuumirwa e Nalufenya. Wabula omusajja eyawulikikidde mu katambi ng’alagirira abazadde ekifo we baasudde ebitundu bye baasaze ku Suzan tebannamukwata.
Muhangi ng’akolera wansi wa AIGP Abas Byakagaba, akulira ekikwekweto kino yagambye nti okusoomoozebwa kwe baafuna kwe kw’amasimu abatemu ge baakozesanga kyokka nga tegaawandiisibwa ate amalala nga gaawandiisibwa mu mannya g’abantu be batalinaako kakwate.
SUSAN MAGARA Y’ANI?
- Okuva 2016 -2018 we bamuttidde, abadde kaasiya wa Bwendero Diary Farm e Kampala.
- Agenda kuziikibwa enkya ku kyalo Muganwa e Hoima.
- Abadde mmemba wa Rotaract Club y’e Bugoloobi gye yeegattako mu 2016 era abadde mpagi luwaga.
- Wakati wa 2007 ne 2008, yali ku St. Lawrence Citizen Paris Palace gye yatuulira S6. lMu 2012, yatikkirwa diguli mu Ethics and Development Studies e Nkozi.
- Okusoma yakutandikira mu St. Catherine Kindergarten e Hoima.
- Yazaalibwa July 20, 1989 e Hoima.
- Pulayimale, yagisomera ku St. Jude Primary School e Hoima mu 2001 n’atuula P7. lYagenda ku Mariam High School e Ntinda wakati wa 2001 ne 2006 n’atuula S4.
- Mu 2016, yatikkirwa diguli eyookubiri mu kubala ebitabo mu Buyindi.
- Okuva mu 2012-2016, yali kaasiya wa Bwendero Dairy Farm e Hoima.
- Tabadde mufumbo era talese mwana ku nsi.