TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Poliisi gye yalemeddwa okutaasa obulamu bwa Susan Magara

Engeri Poliisi gye yalemeddwa okutaasa obulamu bwa Susan Magara

Added 1st March 2018

Abanene mu Gavumenti batadde akazito ku poliisi nga baginenya okugayaala n’eremwa okutaasa obulamu bw’omuwala Suzan n’amala mu buwambe wiiki ssatu nnamba.

 Fr. Mungereza ng’asabira omwoyo gw’omugenzi e Mbuya.

Fr. Mungereza ng’asabira omwoyo gw’omugenzi e Mbuya.

Kigambibwa nti okuva omuwala lwe baamuwamba babadde bamwetoolooleza mu bifo bitaano okuli Mpigi, Matugga, Kawanda, Namirembe ne ku Sir Apollo Kaggwa okuliraana enkulungo egenda e Nakulabye.

Kaweefube w’okununula omuwala yasooka kuyingizibwamu aba CMI. Waaliwo omukisa gw’okukwata abatemu e Mpigi ku bikondo, abatemu we baalagirira taata abasangewo abawe ensimbi bamukwase muwala we.

Wabula kigambibwa nti taata yatya nti naye baali bayinza okumuwamba kubanga baali bamukomekkerezza agende yekka.

Taata w’omuwala yagendera mu mmotoka n’abaserikale ba CMI era bwe yatuukawo n’akuba essimu ne bakamutema nti,

“ Tukulabye, naye abaserikale b’ozze nabo sooka obazzeeyo gy’obaggye okomewo wekka.”

Yali akyennyonnyolako nti azze yekka, abasajja essimu ne bagiggyako.

Kyazuulwa luvannyuma nti baali bamulondoola bakozesa bodaboda era n’emmotoka baagiyitako nga tebabategedde.

Abatemu bwe baava e Mpigi, emirongooti gy’essimu giraga nti amakanda baagasimba Namirembe era ab’ebyokwerinda baba bakyayigga mu mayumba g’e Namirembe ate abatemu ne badda ku Sir Apollo Kaggwa mu bitundu ebiri okumpi ne wooteeri ya Chez Johnson.

Awo nawo baddukawo mangu ne beeyongerayo e Kawanda kyokka nawo tebaamalawo kiseera kiwanvu ne badda e Matugga we baasinze okulwa.

Kiteeberezebwa nti e Matugga gye babadde batulugunyiza ennyo omuwala okutuuka n’okumusalako engalo.

Bino byonna bambega babituuseeko nga bagoberera emirongooti gy’essimu ze babadde bakozesa.

Muhangi yagambye nti omulambo gwagenze okuzuulibwa nga baayimirizza ebikwekweto oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti abazadde baasisinkanye Pulezidenti ne bamusaba abawe omukisa bawe abasajja ensimbi bataase obulamu bwa muwala waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...

Bisaka

Kiikino ekiraamo kya 'katon...

OWOBUSHOBOZI Bisaka yalese alaamye omulambo gwe bagukaze buli mugoberezi anaagenda ng’okusaba agulabeko ng’ekijjukizo....

Omujaasi Namutebi ku nnyumba ye gye baakoonye.

Omujaasi wa UPDF ali mu maz...

OMUJAASI wa UPDF ali mu maziga. Nnannyini ttaka amukoonedde ennyumba n’egwa ku ttaka ng’agamba nti tamwagala ku...

Omubaka Sserubula ne mukyala we nga babasabira.

Be baawangudde mu kalulu te...

SSAABADINKONI w'obusaabadinkoni bwa Lugazi, Canon George William Kityo agumizza abeetabye mu kalulu ne babawangula...

Zaake ng'alaga ekisipi ekimuyambako okugumya ekiwato

Zaake alumirizza abaserikal...

Omubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake alumirizza abaserikale abaamutulugunyiza e Kireka okuddamu okumutulugunya...