TOP

Basonze ku bintu 4 ebyavuddeko Magara okuttibwa

Added 1st March 2018

AKATAMBI akalala bambega ke bazudde okuli amaloboozi g’abasse omuwala Susan kongedde okutakuza abeebyokwerinda emitwe ku kigendererwa ky’abatemu.

Mu katambi kano, omu ku basajja abateeberezebwa okuba nga be beenyigidde mu butemu yasoose kukomekkereza nnyina ali awaka nti:

Bino biggyeemu poliisi. Kano akazannyo ke muyingiddemu nze nakatandika era nkamanyi bulungi. Mubiggyeemu poliisi oba si enkyo Susan nja kumukola ky’olifa teweerabidde.

Nkumanyi bulungi, osula Lubowa, famire ngimanyi, amayumba g’olina n’ebyobugagga e Hoima okuli faamu mbimanyi oba si ekyo Susan ojja kumufuna mu bitundutundu. Olwo abatemu baabadde tebannatta Susan Magara wabula nga bakanda nnyina agambe kitaawe John Magara abawe ensimbi akakadde ka doola kalamba. Era taata.

Bwe yabasabye okukendeeza ku ssente, kwe kumutegeeza nti bakimanyi bulungi nti ssente ezo azirina. Bambega ba poliisi kati beezinze ku bintu bisatu bye bateebereza nti biyinza okubatuusa ku basse Susan oluvannyuma lw’ennaku 20 ng’ali mu buwambe.

l. Oluvannyuma lw’ekiseera nga Susan awambiddwa, bambega baatuuka ku bigambibwa nti taata w’omuwala alina ddiiru gye yayingiramu n’omusajja omu eyategeerekeseeko erya Mugenyi. Ddiiru nti yali ya kutunda mata e Kuwait ng’erimu obukadde bwa ddoola bubiri n’ekitundu (obuwumbi 9 n’obukadde 120 mu za Uganda).

Magara alina kkampuni etunda amata (Bwendero Dairy Farm) ku luguudo Kabakanjagala mu Kampala era alina ne ffaamu e Hoima.

Kigambibwa nti Mugenyi ye yaleeta ddiiru era mu ntegeeragana, baalina okumuwa emitwalo gya ddoola 80 (obuwumbi 2 n’obukadde 920 mu za Uganda) nti wabula baamuwaako emitwalo gya ddoola 10 gyokka (obukadde 365) endala ne bamusuubiza okuzimuwa oluvannyuma.

Nti yakanda kubanja nga tebamusasula era ensonga zino Susan abadde maneja mu kkampuni y’amata yazimanyaako. Mu maloboozi agaakwatiddwa ng’abatemu batulugunya Susan, yabadde alaajana agamba bazadde be basasule abatemu ensimbi bataase obulamu bwe, kyokka tekyasobose.

Bambega abeezinze ennyo ku kino bagamba nti okusalawo okuwa famire omukisa okwogera n’abaawamba omuwala kyesigamizibwa ku bino bye baali bafunye ebyasiiga ekifaanaanyi nti abazadde n’abaawamba omuwala balina kye bamanyi wakati waabwe. Balowooza nti waabaddewo akakuku n’okwesasuza mu bigendererwa by’abatemu ng’ekya ssente yabadde nnyongereza y’ensonga lwaki abatemu baakoze buli ekisoboka okutuusa obulumi ku bazadde omuli n’okutema ku muwala engalo ne bazisindikira abazadde nga ziri mu bbaasa.

2. Ettaka: Bambega era bagoberera n’ebiwanuuzibwa nti obutemu buno bulina akakwate ku nkaayana z’ettaka naddala mu kitundu ekirimu amafuta e Bunyoro. Kigambibwa nti John Magara ng’akolaganira wamu n’eyali Minisita Henry Muganwa Kajura baafuna ettaka e Hoima ne basengula abatuuze ate abalala ne balemerawo.

Bambega kino nakyo bakigoberera nga bagamba nti kisoboka okuba ng’abalina obutali bumativu ku nsonga zino baasazeewo okukolawo akatiisa okulaga Magara ne Kajura nti ku ttaka tebasaaga.

3. Ssente: Bambega era bagoberera n’ebiteeberezebwa nti bano baazize famire ya Magara nga yaakafuna ssente ne basalawo okuwamba omuntu ow’omugaso mu famire n’ekigendererwa eky’okufuna obutitimbe bw’ensimbi.

Omu ku ba famire ataayagadde kwatuukirizibwa yategeezezza nti taata w’omuwala yabadde yaakeewola akakadde ka ddoola era kya beewuunyiza nga ku lunaku lwe zaagenze ku akawunti, ate n’omuwala lwe baamuwambye ate era ne basaba omuwendo gwe gumu ogwo!

Wabula bambega abeezinze ku kya ddiiru y’e Kuwait baategeezezza Bukedde nti okwewola kuno kwabadde kugendereddwa kwongera ‘kapito’ mu kkampuni y’amata okutuukiriza obungi bw’amata ge baabadde balina okutunda oluvannyuma basasulwe obukadde bwa ddoola obubiri n’ekitundu.

Bongerako nti mu kukkaanya, Mugenyi eyaluka ddiiru yassaawo akakwakkulizo nti ezize bazimusasulirawo, kyokka bwe yatuuka okubanja ne bamukambuwalira nga bambega bateebereza nti ono yandibeerako ky’amanyi ku butemu.

4. Eby’omukwano: Bambega era bagamba nti n’ensonga z’omukwano tebazibuusa maaso kubanga ebikolwa by’okuwamba abakazi n’okubatta bitera okulabikira mu baagalana kyokka nga basoowaganye. Wano we baasinzidde n’okukwata muganzi wa Susan ne bamuggalira.

Mu ttuluba lino banoonyereza ne ku butakkaanya obw’engeri yonna obuyinza okuba mu famire.

Poliisi ennyonnyodde Akulira ekikwekweto ky’okuyigga abaakoze obutemu buno AIGP Abas Byakagaba yagambye nti ebintu byonna ebyogerwako ku butemu buno bakyabyetegereza era mu kiseera kitono bagenda kuba batuuse ku kituufu.

Yayongedde okusaba abantu bonna abalina kye bamanyi naddala ku maloboozi agawulikikira ku butambi obwakwatiddwa batuukirire poliisi mu kyama oba okukuba ennamba z’essimu 0800199044 oba 0800199055.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...