
John Magara
John Magara, taata w’omugenzi Susan Magara, ye mutabani w’omugenzi Ceaser Magara e Bwendero.
Ceaser Magara yali muganda w’eyali minisita Henry Muganywa Kajura. Yaleka abaana abawerako n’ebyobugagga okuli ettaka n’amayumba.
- Alina ebyuma ebisunsula omuceere mu Hoima mu mannya ga Nyati Rice Millers.
- Atunda ggaasi akozesebwa mu kufumba n’okwokya ebyuma.
- John Magara ye nnannyini Bwenero Dairy Farm era omugenzi mw’abadde akolera.
- Ebyobugagga bino bizze bigulumbya abooluganda ng’abaana abamu bakaayana okuweebwa obwadayirekita mu kkampuni kitaabwe ze yaleka.
- Alina kkampuni endala ekola walagi ekika kya Cliff gin esangibwa mu ggombolola y’e Kitobo e Hoima.
- Gye buvuddeko yagula mayiro z’ettaka mu Hoima alimireko ebikajjo asobole okwongera okukola sukaaliggulu avaamu ebikola walagi. Kigambibwa nti sente ze yeewola zali zaakwongera maanyi mu bizinensi eno.
- John Magara ng’ali ne bannyina Cathy ne Flora Magara bwe baddukanya kkampuni kitaabwe gye yaleka.