TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abaawambye Susan Magara babadde tebamuwa mmere'

'Abaawambye Susan Magara babadde tebamuwa mmere'

Added 1st March 2018

Omu ku ba famire ataayagadde kwatuukiriza mannya yategeezezza nti, abatemu babadde bakubira nnyina w’omugenzi Immaculate Magara essimu ne bagiwa muwala waabwe ayogereko nabo era n’amutegeeza nti enjala emuluma nnyo kuba abaamuwamba tebamuwa mmere.

 Susan Magara

Susan Magara

Kino kyabadde kikwatagana n’ebyafulumidde mu bbaluwa ya poliisi kuba ekimu ku byabaddemu yabadde egamba nti, omubiri gwa Susan gwabadde gulaga nti yabadde anafuye nnyo olw’obutalya.

TWAGALA KUDDIBWAMU – FAMIRE

Cindy Magara, muwala wa John Magara omukulu, okutemulwa kwa muto we kwamusanze tali mu ggwanga ng’ali mu Australia gy’amaze akaseera.

Olwawulidde okufa kwa muto we, n’awandiika ebbaluwa gye yataddeko obukwakkulizo bba Daniel Lukwago agisome kigambo ku kigambo.

Cindy yasoose kugumya kitaawe n’aba famire abalala oluvannyuma n’ata akaka.

Yagambye nti, okuwamba abantu n’ettemu byefuze eggwanga buli lw’otega leediyo oba ttivvi olaba bantu batemuddwa n’abuuza nti kino kinaakoma ddi.

Yagambye nti, beetaaga okuddibwamu okuva eri ebitongole ekya Uganda Communications Commission (UCC) n’ekya National Identification Registration Authority (NIRA) n’amakampuni g’amasimu gabannyonnyole lwaki eggwanga likyalimu layini z’amasimu ezikola nga teziwandiisiddwa.

Omwaka oguwedde, Gavumenti yalangirira okusalako layini z’amasimu zonna nga August 30, ezinaabeera teziwandiisiddwa.

Kyamazima essimu zonna ezaali teziwandiisiddwa nga bannyini zo bakozesa densite z’eggwanga, zaasalibwako.

Emyezi etaano egiyiseewo nga Bannayuganda balowooza nti essimu zonna zaasalibwako wabula kyazuuse nti, wakyaliyo layini ezikozesebwa nga si mpandiise.

John Magara, yagezezzaako okuzuula bannannyini ssimu abatemu ze baabadde bakozesa okumukubira wabula tewali kye yazudde, k’ebeere poliisi terina kye yazizuddeko okutuusa muwala we lwe yatemuddwa.

Cindy agamba nti, ayagala okumanya lwaki eggwanga likyalimu layini z’amasimu ezitali mpandiise era Gavumenti erina okunnyonnyola.

Yagasseeko nti, ayagala abasse muto we, bagwe eddalu badduke bukunya ku nguudo za Kampala abantu bonna babategeere nti, be batemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...