TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ateeberezebwa okwogera ku katambi k'okutemula Magara bamukutte

Ateeberezebwa okwogera ku katambi k'okutemula Magara bamukutte

Added 4th March 2018

OMUSAJJA ateeberezebwa okuba nga y’ayogerera ku katambi k’abaatemudde omuwala Susan Magara bamukutte.

 Susan Maraga (owookubiri ku ddyo) nga yeekubya ‘selfie’ ne mikwano gye.

Susan Maraga (owookubiri ku ddyo) nga yeekubya ‘selfie’ ne mikwano gye.

Wadde amannya ye Bob Kalyango, naye bambega ba poliisi bateebereza nti ono ye musajja awulikikira ku katambi ng’ayogera Olunyoro olumenyefumenyefu.

Eddoboozi poliisi lye yafulumizza amangu ddala ng’omulambo gwa Magara gwakazuulwa e Kitiko mu Makindye Ssaabagabo lyabadde lya musajja alagirira we baasudde ebitundu bye baasaze ku muwala ono gwe baamaza mu buwambe ennaku 21 oluvannyuma ne bamutta.

Kalyango baamukwatidde Bulenga ku luguudo lw’e Mityana kyokka ng’abadde akyusakyusa ebifo era yasooka kwewogoma ku lw’e Ntebe oluvannyuma n’adda e Bulenga.

Bambega bagamba nti Kalyango yatandikira mu bufere ku luguudo lw’oku William kyokka bamulumiriza nti oluvannyuma yakwatagana n’ekibinja eky’omutawaana ekiwamba abantu.

Kigambibibwa nti ekibinja kino kirimu ne Munnayuganda wabula ng’amakanda yagasimba South Afrika era mu ‘misoni’ eno, y’omu ku baabadde bayambako mu tekinologiya wamu n’okuwa ebiragiro ku kiddako.

Bambega bakyabuuliriza okuzuula oba ekibinja kino kipangisibwa bupangisibwa okukola ‘misoni’ z’okuwamba abantu n’okubatta, oba kyekozesa kyokka mu kuwamba abantu abeesobola n’ekigendererwa eky’okubafunamu ensimbi; ng’okutta kijja mu butanwa oba nga kikolebwa beekengedde ebiyinza okuddirira ssinga omuntu gwe bawambye bamuyimbudde.

ENGERI GYE BAKUNYIZZA KALYANGO

Poliisi olwamukutte, yatandikidde mu kumugamba addemu ebigambo ebyayogerwa ku katambi nga beekenneenya okuzuula enkwatagana eriwo. Baamuwalirizza okuddamu ebigambo bino ebyayogerwa omutemu:

Kwata oluguudo lw’e Ntebe, ojja kuhita Namasuba, sirimuka aha Petrol Station gye beeta Hass, ojja kulabaho… bagyeta Hass, ojja kulabaho; bayitaho Batabata e Namasuba; Sirimuka ha mukono ogugenda e Ntebe ha kipande ku ha kikondo, ojja kusangaho messegi ya muhara ho mu kaveera.

Wetegyerize? Abamu ku bali mu kunoonyereza ku butemu buno baategeezezza Bukedde nti Kalyango mu kuddamu ebigambo ebyo yalaze nti eddoboozi lye lyawukana kw’eryo eriwulikikira mu katambi kyokka baamulemeddeko nga bateebereza nti ali ku bukodyo obw’okulagira ddala nti talina kakwate ku ddoboozi ly’abatemu.

Omu ku bambega yagasseeko nti abantu abakyusakyusa amaloboozi babeera bazibu kubanga bw’amanya eddoboozi lye mwetaaga, eryo ly’akwekera ddala.

Baamuwadde n’ebigambo ebirala ebyabadde mu butambi obulala kyokka era nabyo yabyogedde mu ngeri etekwatagana na maloboozi agaali gasaba ssente okuyimbula Magara.

Kalyango yategeezezza bambega nti talina kakwate ku butemu buno era n’Olunyoro talumanyi, kyokka bambega balemeddeko nga bagamba nti abaabatemezzaako nti omusajja y’oyo awulikikira ku katambi baabakakasizza nti eddoboozi eryo alyogera era n’Olunyoro olw’ebitege alumanyi.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti baatumizza omukugu mu kutaputa amaloboozi kubanga ono asobola okutegeera eddoboozi ly’omuntu ne bw’aba alikyusizzakyusizza.

John Magara kitaawe w’omuwala mu kuziika yagambye nti bwe yaweereza abatemu ensimbi ze baali bamusabye yafuna essuubi nti baakuyimbula muwala we, wabula kyamubuuseeko ate okutegeezebwa nti bamusse.

Abatemu baaweebwa emitwalo gya ddoola ebiri nga mu za Uganda zibalirirwamu obukadde 730. Ssente baazibasanza Lubowa ku luguudo lw’e Ntebe era n’omulambo nagwo gwasangiddwa ku luguudo olwo e Kitiko - Birongo.

Kalyango bamutambuza mu bifo eby’enjawulo we bamukuumira naye yasooseddwa ku CPS mu Kampala nga tannatwalibwa Nalufenya.

Baamubuuzizza ne ku mmotoka Pajero eyakwatiddwa nga kigambibwa nti y’eyakozesebwa mu kuwamba Magara wabula n’alaga nti nayo tagimanyiiko.

AIGP Abbas Byakagaba yagambye nti okunoonyereza bakukutte na maanyi era mu bbanga ttono basuubira okuvaayo n’ebisunsuddwa obulungi ku butemu obweraliikirizza ennyo abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu