TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu!! Okuwamba abantu kufuuka kutya okw'ejjenjeero?

Ensi egudde eddalu!! Okuwamba abantu kufuuka kutya okw'ejjenjeero?

Added 4th March 2018

BULIJJO ekimu ku bintu bye tusinga okwenyumirizaamu ku Gavumenti ya NRM kwe kutebenkeza eggwanga n’okukomya ebikolwa bya ddukadduka mwe baabulizangawo abantu ne bataddamu kulabika.

 Omugenzi Susan Magara

Omugenzi Susan Magara

Kye ndaba ne bye mpulira nzibuwalirwa okukkiriza oba tukuba livaasi oba tugenda mu maaso.

Gwali mulembe gwa Idd Amin abantu bwe baabuzibwangawo ne bataddamu kulabikako nga n’okutuusa kati famire ya Ben Kiwanuka tebayinza kukusongera ku malaalo ge.

Ebikolwa by’okuwamba abantu ebyefuze eggwanga ensangi zino bikumala okukakasa nti ddala ensi egudde eddalu.

Kumpi buli wiiki wabeerawo omuntu afulumira mu mawulire ng’abuze. Mu mwaka gwa 2017 gwokka, lipooti y’ekitongole kya poliisi ekya Fyling Squad yalaze nti abantu 24 be baaloopebwa ku poliisi nti bawambiddwa nga ku bano omu yasangibwa attiddwa.

Abantu 15 baasobola okununulwa nga bakyali balamu ate 8 bannannyini bo bakyabanoonya naye tebalabika.

Wadde nga Emilian Kayima, ssekamwa wa poliisi yawadde ensonga ez’enjawulo eziviirako abantu okubuzibwawo okuli; ezeekuusa ku mukwano, ddiiru za bizinensi n’abamu abagenderera okunoonya ssente, ensonga za poliisi ziwulikika ng’entuufu, kyokka ekisinga obukulu kye twagala kwe kulaba ng’ebikolwa bino bifumwa ng’abayeekera ba Joseph Kony abaafufuggazibwa.

Omwaka oguwedde abakyala abasoba mu 10 be battibwa ne basuulibwa e Nansana nga baasooka kuwambibwa. Okuttibwa kwa Susan Magara kukkaatiriza nti poliisi ekyalemeddwa okutuuka ku kibondo ky’abakyamu bakyabuluzeemu.

Omuze gw’okuwamba abantu tegukomye ku bantu be tutategeera, kyokka n’ebitongole ebikuumaddembe nabyo byenyigiddemu. Bano balumbira ddala ng’abazigu anti batwala omuntu ne bamubuzaawo nga mpaawo amanyi musango gwe bamulanga.

Nganga Bicheche Bola, omutuuze w’e Buziga eyamaze wiiki nnamba mu buwambe oluvannyuma ne bamuyimbula nga talina musango gwe bamugguddeko bw’akunyumiza ebibye okwata ku mumwa.

Ye abaffe ani ataawulira munnamawulire wa New Vision, Charles Etukuri eyabuzibwawo okumala wiiki nnamba. Byatandika nga bya kusaaga abantu abaalinga mu ngoye eza bulijjo bwe baawambanga abantu ne bababuzaawo emisatu ttuku nga bakutte pisito.

Abaserikale abali mu yinifoomu bwe baba bawamba, abali mu ngoye eza bulijjo nga bawamba ne be tutamanyi nga bawamba olwo omunaku addukire wa?

Tukitwale nti y’enkola entongole eriwo okuwamba bantu oba waliwo ab’olubatu abaagala okuvunza Gavumenti yaffe gye njagala okukira Abiriga.

Mu kiseera kino bw’obulwa omuntu wo, oyinza n’okuzibuwalirwa okutegeeza ab’obuyinza anti tomanya bayinza okuba be bamulina, kyokka nga beesirikidde be cce.

Abantu abamu abakwatibwa babeera ba buvunaanyizibwa abasobola n’okuyitibwa ne beeyanjula mu b’obuyinza ne bennyonnyolako ku biba bibavunaanibwa.

Mu kiseera kino nga tuvumirira abaawambye Magara ne bamutemula mu ngeri ey’entiisa, leka nkikinale ng’ambe ku bitongole ebikuumaddembe mwekube mu kifuba mukomye okuwamba abantu.

Anti ne bajjajjaffe baalugera nti ow’ebbango bw’otamuwemukira teweebikka. Abeenyigidde mu kuwamba bannammwe mukimanye nti ensobi ebbiri temuvaamu kirungi.

Ensigo gye musize ya bukyayi etaliimu kalungi, ejjudde effuttwa, ejjoogo, n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu. Bulijjo eriiso ly’omukulu awaddugala we walaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.