TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino ensonga lwaki Museveni agobye Kayihura ne Tumukunde

Ziizino ensonga lwaki Museveni agobye Kayihura ne Tumukunde

Added 5th March 2018

PULEZIDENTI Museveni okugoba Gen Kale Kayihura ne Minisita ow’Obutebenkevu, Lt. Gen Henry Tumukunde kiddiridde bannamagye bombi okwanika obuziina mu lujjudde ekivuddeko Ebyokwerinda okwonooneka.

 Kayihura ne Tumukende Pulezidenti Museveni be yakutte ku nkoona

Kayihura ne Tumukende Pulezidenti Museveni be yakutte ku nkoona

Amaka g’Obwapulezidenti gaafulumizza ekiwandiiko eggulo ekyategeezezza nti Pulezidenti alonze Gen. Elly Tumwine nga Minisita w’Obutebenkevu, ne Okoth Ochola, ng’omuduumizi wa Poliisi omuggya.

Ate Brig. Sabiiti Muzeeyi, abadde aduumira Miritale Poliisi era yaliko omumyuka w’omuduumizi w’eggye erikuuma Pulezidenti, alondeddwa ng’omumyuka w’aduumira Poliisi ng’adda mu bigere bya Ochola.

Amannya, erya Tumwine, Ochola ne Muzeeyi gaawerezeddwa mu Palamenti okukakasibwa nga tebannalayizibwa mu bifo ebipya.

Tumukunde 59, ne Kayihura 62, bajja kuweebwa obuvunaanyizibwa obulala. Tumukunde yalondebwa ku Bwaminisita mu kabinenti empya, Pulezidenti gye yalonda nga June 6, 2016 nga yaakawangula ekisanja ekya 2016-2021.

Tumukunde yali amaze emyaka 11 ng’ali ku kateb okuva mu 2005 bwe yaggyibwa ku bubaka bwa UPDF olw’okumenya amateeka agakugira abajaasi okwenyigira mu byobufuzi ebyawulayawula mu bantu.

Gen . Kayihura, obwa IGP abumazeeko emyaka 13 okuva mu 2005 lwe yalondebwa okudda mu bigere bya General Edward Katumba Wamala.

ENSONGA LWAKI MUSEVENI AGOBYE TUMUKUNDE NE KAYIHURA

Pulezidenti Museveni agenze okugoba Kayihura ne Tumukunde ng’obubonero bweyoleka dda.

Wiiki ewedde mu lukiiko lw’abakulira ebitongole ebyokwerinda olwatudde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe, ensonda zaategeezezza nti Pulezidenti yagugumbudde Tumukunde ne Kayihura olw’okugugulanira mu lujjudde n’abategeeza nti okwerumaaluma kwabwe akukooye.

Pulezidenti yatuuse okugamba Tumukunde ne Kayihura nti abeewunya okwanika obuziina bwabwa mu lujjudde nga bakimanyi nti ssinga wabaawo obutakkaanya basobola okubutwala mu lukiiko lw’Ebyokwerinda olwa National Security Council ne bugonjoolwa.

Guno gwabadde mulundi gwakubiri mu lukiiko lwe lumu olwa National Security Council nga ku ntandikwa ya February , 2018 , Pulezidenti era yalabula Kayihura ne Tumukunde okukomya okugugulana n’agamba nti tajja kubagumiikiriza.

Nga February 16, 2018, Pulezidenti bwe yabadde e Luwero ng’akwasibwa lipooti y’akakiiko ak’omulamuzi Bamugemereirwe ku by’ettaka, yategeezezza bannamawulire nti okugugulana kw’ebitongole ebyokwerinda ssi kulungi eri eggwanga n’agamba nti amangu ddala ekyo kigenda kutereezebwa.

Ye Kayihura, Pulezidenti abadde amaze ebbanga ng’amulabula nga yatuuka n’okumwatulira mu lujjudde mu lumbe lwa Felix Kaweesi bwe yamugamba nti, “ Kale gogola ennyumba yo”.

Museveni yasinziira mu maka ga Kaweesi e Kulambiro n’agamba nti azze afuna lipoota eziraga nti Poliisi ejjuddemu abamenyi b’amateeka era kwe kugamba Kayihura nti agogole enju ye, oba si ekyo ye ajja kumuyamba okugigogola.

Mu biseera lwe waaliwo ettemu e Wakiso n’e Ntebe omwattirwa abakazi 23, Museveni era yakuba ebituli mu nkola ya Kayuhira ey’emirimu n’atuuka n’okugenda mu bifo eby’enjawulo e Ntebe gye baali battidde abakazi, abantu ne bamutegeeza obunafu bwa Poliisi.

Kigambibwa nti waliwo ne lipooti ez’enjawulo ze bakoledde Pulezidenti nga ziraga obuvundu mu Poliisi nga balumiriza Kayihura okubeera munnabyabufuzi okusinga okubeera omuserikale.

Emu ku lipoota egambibwa okuba nga yakolebwa Afande Mohammad Kirumira eyalaga nti Poliisi mu kiseera kino esingamu bamenyi b’amateeka okusinga abaserikale era n’awa amagezi nti Poliisi okutereera ng’eyiiriddwa okuva waggulu okutuuka mu wansi.

Okuwamba n’okutemula Magara kyayongedde okwoleka obunafu mu bitongole ebikuumaddembe, bwe byalemeddwa okununula omuwala mu mikono gy’abatemu.

Pulezidenti yennyini yeenyigidde mu kununula omuwala ne kitasoboka ng’ate amaanyi ge gali mu byakwerinda. Kayihura yalekeddwa bbali mu nsonga zino, kyokka Tumukunde bwe yagenze mu kuziika e Hoima n’ategeeza nti abatemu baabadde n’obukugu obwenjawulo obwabasukkiriddeko.

Ekyo Museveni tayinza kukigumiikiriza okulaga nti abatemu balina obukugu okusinga ebitongole by’ebyokwerinda okuggyako ng’ayogedde (Tumukunde) ye munafu.

Kayihura abadde ku “ccupa” olw’ebizibu by’omuddiring’anwa okuli abeebijambiya abatta abantu naddala e Masaka, gattako abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka okuli Abdallah Kitatta abakolagana ne Kayihura.

Tumukunde ate naye n’atabula ebintu bwe yasembeza eyali omubbi Shobbi gw’akozesa mu kukwata oba okubega ababbi.

Kyokka Kayihura muwulize nnyo eri Museveni era mu gumu ku mirimu gy’akoze kwe kulwanyisa abooludda oluvuganya naddala Kiiza Besigye.

Okuva lwe baava mu nsiko akoze ebikwekweto bingi okuli okulwanyisa abakukusa ebyamaguzi ku nnyanja.

Tumwine addidde Tumukunde mu bigere y’omu ku baatandika olutalo olwaleeta NRM mu buyinza mwe yafiirwa eriiso.

Akoze mu bifo bingi okuli omuduumizi w’amagye, Minisita weggwanga ow’Ebyokwerinda n’okukulira akakiiko akagaba emidaali gy’abazira. Ebirala mu Bukedde w’enkya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

vd

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.