TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiki ekirwanya Tumukunde ne Kayihura okuva mu 2005 Kayihura Tumukunde?

Kiki ekirwanya Tumukunde ne Kayihura okuva mu 2005 Kayihura Tumukunde?

Added 5th March 2018

EMBIRANYE wakati wa Lt. Gen. Henry Tumukunde ne Gen. Kale Kayihura, emaze bombi n’ebamegga sso nga kigambibwa nti buli omu abadde akolerera kusuula munne.

Okwejjukanyaamu katono, Bukedde gye buvuddeko yakulaze empalana eno gy’evudde era ensonga zibadde bwe ziti:

Empalana yatandikira mu biseera eby’omu nsiko kyokka yasinga kweyoleka mu 2005, Tumukunde bwe yakwatibwa n’aggalirwa ng’avunaanyibwa okusaasaanya kalebule n’okumenya amateeka g’amagye agamukugira okweyingiza mu byobufuzi.

Ekiseera ekyo mu 2005, Tumukunde yali mubaka wa Palamenti akiikirira UPDF ate Kayihura yali muluhhamya w’Ebyobufuzi mu UPDF nga bombi, bali ku ddaala lya Brigadier mu UPDF.

Tumukunde okukwatibwa yasooka kuyitibwa mu lukiiko lwa bofiisa b’amagye okwali; eyali avunaanyizibwa ku mbeera z’abajaasi, Maj. Gen Joshua Masaba, omuluh− hamya w’ebyobufuzi mu UPDF, Brig. Kale Kaihura n’eyali agakulira, Col. James Mugira.

Kigambibwa nti Tumukunde tasonyiwa nga Kayihura olw’ebyali mu lukiiko n’ebyokumukwata n’asimbibwa mu kkooti y’amagye, gye yawerennembera n’emisango okutuukira ddala mu April 2013, lwe gyamuukka mu vvi kyokka n’asonyiyibwa.

Ebbanga ery’emyaka nga 10, lye yamala ku katebe okutuuka mu 2016 , Pulezidenti Museveni lwe yamulonda ku bwaminisita, Tumukunde yayita mu mbeera enzibu ddala egambibwa nti yamutuusibwako Kayihura.

Musajja wattu n’Obwaminisita tabuwezezzaako myaka ebiri. Kayihura azze amegga Tumukunde naye ng’Abaganda bwe bagamba nti akugoba takutadde tabulako ky’akusuuza.

Tumukunde yagenda okuva ku katebe, nga Kayihura bwe baali ku ddaala erimu yamuyitako dda n’afuuka Genero sso nga ye yali akyali ku ddaala lya Brigadier. Eddaala lya Lt. Gen lyamuweebwa asiibulwa mu magye ga UPDF ge yawummula mu September 2015.

Tumukunde w’afunidde ekifo ky’Obwaminisita, Kayihura asangiddwa ng’alina obuyinza bungi ku byokwerinda eby'omunda mu ggwanga nga kyenkana y’avunaanyizibwa ku bitongole byonna ebyokwerinda n’obukessi ebyomunda mu ggwanga.

Sso nga n’ebweru abadde atuukayo. Ensonda mu by’ebyokwerinda zaategeezezza nti waliwo lipoota Tumukunde gye yakolera Pulezidenti Museveni eyayanika ebituli, n’obunafu mu nkola ez’okwerinda ezaaliwo mu ggwanga n’alabula Pulezidenti nti bwe watabaawo kikolebwa mu bwangu, ayinza okujjukira ‘okwebikka nga bukedde’.

Okuva lwe yalondebwa ku bwaminisita w’Obutebenkevu, Tumukunde azze ayogera ebigambo mu lujjudde ebyoleka nti si mumativu n’enkola y’emirimu gya Poliisi mu kukuuma Bannayuganda n’ebintu byabwe.

Yagugumbula nnyo Poliisi ku ttemu ly’abakyala mu Wakiso, ne ku by’ebijambiya ebyasattiza abantu mu Masaka, Ssembabule, ne Mpigi, okutemulwa kwa Afande Kaweesi, okutemulwa kwaBamaseeka, n’agattako n’okulabula aba Bodaboda 2010 enfunda eziwera ku kutwalira amateeka mu ngalo.

Ne ku by’okuwambibwa n’oluvannyuma okuttibwa kw’omuwala Susan Magara, Tumukunde bye yayogedde mu lumbe n’awalala bibadde biraga ebituli ebiri mu bitongole ebikuumaddembe era ng’okusingira ddala ategeeza poliisi.

Aba Bodaboda 2010, Tumukunde abeeweredde okuviira ddala mu 2016 nga yaakalondebwa ku bwaminisita era olumu yakuba olukiiko n’asisinkana abantu abagambibwa okutulugunyizibwa ne bamuttottolera ebikolobero ebibatuusiddwaako basajja ba Abdallah Kitatta nga Poliisi etunula butunuzi. Era nga bonna balumiriza nti bawagirwa Kayihura ate naye n’akikkiriza mu kakiiko ka Palamenti nti abasajja abo azze abeeyambisa.

Bwe yalabula aba Bodaboda 2010, Kitatta yakuba olukiiko mu August 2016, n’awalampa Tumukunde nti yeesonyiwe ebintu bya bodaboda oba tamanyi mulimu gwe agende Pulezidenti Museveni amunnyonnyole ku biki by’ateekeddwa okukola nga Minisita. Kitatta ng’ayogeza amaanyi yasinziira ku ofiisi za 2010 e Nateete n’agamba nti minisita Tumukunde talina buyinza bwogera ku nsonga za bodaboda. Ng’oggyeeko kw’olwo lwe yagugumbula Tumukunde, Kitatta azze alumba n’okulengezza Tumukunde enfunda eziwera era aba Tumukunde bagamba nti Kayihura y’abadde awaga Kitatta okulengezza Tumukunde. Wabula abamanyi eby'omunda bagamba nti obutakkaanya bwa Tumukunde ne Kayihura bwekuusa ku ngeri bombi gye bavuganya mu maaso ga Pulezidenti kw’ani asinga okubeera n’omugaso mu byokwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga.

TUMUKUNDE ATANDIKA OKUWANGULA

Tumukunde nga minisita w’Obutebenkevu, y’avunaanyizibwa ku bitongole ebikessi ekya ISO ne ESO era y’akwatibwako ku kunoonya, okusunsula n’okusengejja amawulire ag’omukessi munda n’ebweru w’eggwanga.

Kayihura nga IGP y’avunaanyizibwa ku Poliisi era mu mirimu gye nga IGP avunaanyizibwa ku bukessi, okutangira n’okulwanyisa obuzzi bw’emisango era waliwo ekiseera lwe kyatuuka Tumukunde nga tannafuuka Minisita nga ssente ez’obukessi ziyitira mu Poliisi era aba ISO nga bakaaba nti tebakyafuna ssente nga bwe bateekeddwa.

Tumukunde bwe yalondebwa, yalwana okulaba nga ISO ne ESO ziddamu okufiibwako okukola emirimu gyazo ne Poliisi yeemalira ku buvunaanyizibwa bwayo nga bwe bulambikiddwa era eno y’emu ku nsonga ezibatabula ne Kayihura.

Obutakkaanya bwa Poliisi n’ebitongole nga ISO bweyolekera ku by’okunoonyereza ku kutemulwa kwa Afande Kaweesi, okunoonyereza ku batemula abakyala mu Wakiso, ggattako n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala ba Kifeesi.

Eno y’ensonga lwaki wabaddewo obutakwatagana wakati wa Poliisi n’ebitongole ebikessi ku bantu abazze bakwatibwa ku kutemulwa kwa Kaweesi era waaliwo okukubgana empawo wakati wa Poliisi n’aba ISO ne CMI mu November 2017 kw’ani yaddamu okukwata abasibe abaali bayimbuddwa kkooti.

Ebitongole byombi era byakonaagana ku kukwatibwa kw’omukazi Christine Muhoza Mbabazi agambibwa okumanya ebingi ku lukwe lw’okutta Kaweesi. Era olutalo luno Tumukunde yaluwangula ISO n’emusigaza.

Bwe gwatuuse ku kukwatibwa kw’eyali akulira abatemu n’agayaaye aga Kifeesi, Paddy Serunjogi amanyiddwa nga ‘Sobi’, ne gujabagira kubanga Poliisi yamukwata ne basajja be ne batwalibwa mu kkomera e Nalufenya kyokka yasula lumu, akulira ISO Bagyenda Kaka n’asindika basajja be ne bamuggyayo era kati alya butaala.

Kitatta ne basajja be aba Bodaboda 2010 abagambibwa okwetaba mu kutemula Fransi Ekulangar eyali akola mu Case Hospital baakwatiddwa ISO ne CMI mu kifo kya Poliisi, olw’ebigambibwa nti Poliisi ebadde tesobola kukwata Kitatta kubanga abakolera.

Kayihura ne Tumukunde buli lwe babadde batuukirirwa Bannamawulire okwogera ku butakkkanya bwabwe, bombi nga babyegaana Bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda n’Ensonga Ezomunda ng’ababaka bamubuuza ku butakkaanya bwabwe ne Lt. Gen Tumukunde, Kayihura yagambye bwati:

“ Nze ndi muntu wa wansi ku Tumukunde kubanga ye Minisita n’olwekyo siyinza kubaako ngeri gye nvuganya naye”.

Mu lukiiko olwo, Kayihura mwe yasinziira okuwolereza Kitatta nti ayambye nnyo Poliisi iokulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu ba Bodaboda n’abawakanya gavumenti. Enkeera Tumukunde yalagira Kitatta n’akwatibwa.

Ye Tumukunde yategeeza ababaka ba Palamenti omwaka oguwedde nti tayinza kubeera ku mbiranye na Kayuhira kubanga ye yawummula amagye, kati Minisita n’olwekyo tayinza kuvuganya n’omuntu akola emirimu egy’ekikugu n’agamba nga Minisita obuvunaanyizibwa bwe bwa kussa mu nkola enteekateeka za gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...