TOP

Kayihura abadde akolera Rwanda - Besigye

Added 7th March 2018

DR. KIZZA BESIGYE agambye nti, wadde waliwo bingi ebiremye Gen.Kale Kayihura naye ekikulu ekimugobesezza mu poliisi kyekuusa ku nkolagana ye ne Pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame ebadde tesanyusa bakamaa be.

 Besigye ng’annyonnyola ku kugobwa kwa Kayihura.

Besigye ng’annyonnyola ku kugobwa kwa Kayihura.

Yagambye nti akakuku akaaliwo wakati wa Uganda ne Rwanda tekaggwangawo akatuusa n’amawanga gombi okukubaganira mu ggwanga lya Democratic Republic of Cong (DRC).

Yagambye nti Kayihura abadde alina engeri gy’agenda mu maaso n’okukolagana n’abakulira ebyokwerinda e Rwanda abalala kye batayagala kuwulira.

Yagambye nti bangi ku bakungu mu Gavumenti bakwatibwa ennugu n’ensaalwa ku nkulaakulana ya Rwanda ate nga ggwanga tto nnyo Uganda lye yali esinga ennyo.

“Bw’otunuulira ebyobulimi e Rwanda, ebyenjigiriza n’enguudo byonna biraga eggwanga erikulaakulana ate mu Uganda ebitongole bingi bizihhamye”, Besigye bwe yagambye.

Yategeezezza nti Kayihura abadde alina enkolagana n’abamu ku bakungu e Rwanda ekyatabudde bakama be nga bamulaba ng’atakyabawuliriza era nti afunyeeyo abakulu abalala b’awuliriza ne bamugoberawo.

“Kino nkikakasa kubanga Palamenti ebadde yakamwongera omulimu ng’aba Gavumenti bamukkiririzaamu. Ensonga eyaguddewo eya Rwanda nkulu”, Besigye bwe yagambye.

Bino yabyogedde ggulo mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku luguudo lwa Katonga e Nakasero we yassa ofiisi ze.

ENSONGA ENDALA

Besigye yagambye nti Kayihura abadde yafuuka bbulooka wa byabufuzi. Yagambye nti abadde alina ebibinja by’abantu b’atuma mu bannabyabufuzi ye b’alaba ng’ababadde balemera ku nsonga n’abagulirira.

Kino kyali kyamuggya dda ku mulamwa nga yafuuka bbulooka wa mukama we.

Yagambye nti abadde takyagoberera mateeka ng’akola buli kimu ky’asanga kasita kiba nga kinywereza mukama we mu ntebe.

Yagambye nti, poliisi eteekwa kutambulira ku mateeka naye bw’ogavaako ng’emirimu gikulemye.

Yategeezezza Kayihura emirimu abadde yagifuula gya baaluganda na mikwano. ng’abantu ye b’alaba nti b’ayagala era abamukolera ebyobufuzi b’akuza mu kitongole.

Besigye yagambye nti Kayihura abadde atulugunya abaserikale be yasanga mu kitongole nga baatendekebwa bulungi mu mirimu gya poliisi n’okukolera eggwanga.

Bangi abadde yabasuula nga tabakuza nabo ne banyiiga era abamu babadde bakolerera kumusuula naye ng’ensobi eva ku ye.

Yagambye nti Kayihura abadde takyalina mugongo. Ensonga entuufu gy’amanyi obulungi nti etambulira ku mateeka agisuulawo n’akolera mukama we asobole okuganja.

“Abadde akimanyi bulungi nti etteeka lya ‘Public Order Management Act’ litukkiriza okutuuza enkiiko z’ebyobufuzi kyokka nga yaziwera ng’omuntu.

Abadde akola kiyamba mukama we ate nga Poliisi esaana kutambulira ku mateeka naye si kukwagala kwa muntu.

Yagambye nti Kayihura yaggya ebintu ku mulamwa era nga biteekwa kumwekyusiza emirimu gimuleme agobwe. Enkola ya ‘Community policing’ nga yagitta dda yagifuula ya mukama we.

Yagambye nti yatandika okumanya Kayihura nga tannaba kuyingira poliisi era abantu babiri, ye Kayihura n’omugenzi Noble Mayombo baali bagezi nnyo era bannamateeka abamanyi obulungi bye bakola kyokka nga tebeetengeredde bakyukakyuka n’okukozesebwa bafune obuganzi.

Yagambye nti ensobi zonna ezikoleddwa mu poliisi tazissa ku Kayihura ng’omuntu naye abadde amuwa ebiragiro.

HENRY TUMUKUNDE

Yagambye nti oyo abadde amulaba ng’omugenyi mu Gavumenti kyokka alina ekizibu ky’olulimi n’okwogera akaati ye ng’ebintu bw’abiraba era embeera eyo y’emugobesezza, “Taluma mu bigambo.

Ebintu abyogera mu mazima ate ng’abamu b’akola nabo babikkako. Kino mbadde nkisuubira kubanga emyaka kkumi gye yamala ebweru abadde tasobola kukola bintu bisanyusa mukama we.

Yagambye nti wadde akitegedde nti bagenda kumwongera omulimu naye era takyasobola kukolera mu Gavumenti erabika nti by’ekola tabikkirizika.

ELLY TUMWINE

Besigye yagambye nti yeewuunya bannansi abalowooza nti bafunye abakulembeze abatuufu mu nkyukakyuka ezikoleddwa.

“Wadde bonna bapya naye ate nze ndaba bagenda kukola bubi n’okusinga Kayihura. Ochora agenda kwagala okukola ennyo asanyuse mukama we ate ebintu abyonoone kubanga tagenda kusobola kukola abamulonze bye baagala”, Besigye bwe yagambye.

Yategeezezza nti Tumwine talina ky’agenda kukola kubanga ekifo kye bamuwadde ekya minisita w’obutebenkevu kigwa butereevu mu ofiisi ya Pulezidenti.

“Pulezidenti ky’ayagala ky’omukolera era mu nkola ennyangu ekifo ekyo okukikuwa baba bakutadde ku katebe kubanga emirimu gyonna Pulezidenti y’agikola”, Besigye bwe yagambye.

Yategeezezza nti Tumwine byonna by’akola agenderera kusanyusa mukama we .

“Oyo abadde yakubwa dda ku katebe ng’akola ku midaali era ne we bamutadde talina ky’agenda kukola era bannansi beekaabire kubanga naye wa byabufuzi.

MUZEEYI SABIITI

Yagambye nti entendeka y’amagye ne poliisi byawuka kinene. Okuggyako okutuukiriza ebigendererwa bya mukama we eyamuwadde omulimu naye talina ky’agenda kukola kitereeza poliisi okuggyako okwongera okugitabula.

Besigye yagambye nti ebitongole bingi byava dda ku mateeka kubanga ababirimu bakola okusinziira ku bigendererwa by’omuntu abalonze.

Yagambye nti enkola egobererwa mu bitongole bya Gavumenti yava dda ku mulamwa era eranga kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu