TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Poliisi babiri bazuuliddwa ku by'okutta Suzan Magara

Aba Poliisi babiri bazuuliddwa ku by'okutta Suzan Magara

Added 9th March 2018

Aba Poliisi babiri bazuuliddwa ku by'okutta Suzan Magara

 Susan Magara bwe yali afaanana.

Susan Magara bwe yali afaanana.

OLUVANNYUMA lw’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI okukwata omusajja Ronald Asiimwe amanyiddwa nga Kanyankole, ab’ebyokwerinda baliko abaserikale ba poliisi babiri be banoonyerezaako nga kigambibwa nti be baayambangako abaawamba Susan Magara oluvannyuma ne bamutta mu ntiisa.

Bambega abanoonyereza mu musango guno baategeezezza Bukedde nti waliwo abaserikale ba poliisi babiri abaayambako abatemu. Abaserikale bano nti baalondoolanga entambula za bazadde ba Magara nga babuulira abatemu ebigenda mu maaso.

Abaserikale bano nti baali bakozesa emmotoka ekika kya Toyota Super Custom mwe baatambuliranga ekiseera kyonna Magara kye yamala nga muwambe, wabula emmotoka eno nti yali epangisiddwa bupangisibwa era oluvannyuma lwa ‘misoni’ okuggwa, emmotoka baagiddiza nnyini yo.

Susan Magara yawambibwa nga February 7, 2018 era ne bamutta mu kiro ekyakeesa February 27 nga bamumazizza mu buwambe wiiki ssatu, omulambo ogwali gusaliddwaako engalo ne bagusuula e Kitiko-Birongo mu Makindye Ssaabagabo.

Abaserikale ababiri be banoonyerezaako (amannya galekeddwa), omu munene mumpi wa kiwago muddugavu ate omulala muwanvu mutono mweru era ali ku ddaala lya SSP ng’atera okubeera ku kitebe kya poliisi e Naggulu. Abadde Minisita w’obutebenkevu, Lt. Gen. Henry Tumukunde ng’ali mu kuziika yagamba nti obukodyo abaawamba Magara bwe baakozesanga bwabeewuunyisa nnyo; kyokka bambega bagamba nti ekimu ku byayamba abatemu ne batuuka n’okugenda n’ensimbi ezisukka obukadde 700 be baserikale bano abaabayambangako okubabuulira eky’okukola era oluvannyuma baabaawuliza ku ssente.

John Fitzgerald Magara kitaawe wa Susan Magara, mu kusabira omwoyo gwa muwala we nga February 28 mu Klezia ya Our Lady of Africa e Mbuya yategeeza nti, buli kye baali bakola abatemu baakimanyanga, era omulundi ogwasooka nga taata agezaako okusisinkana abatemu e Mpigi ku Bikondo, yalina abaserikale babiri omu nga yeefudde ddereeva ate omulala nga yeefudde muganda we, wabula abatemu ne bamukubira essimu nga bamulagira asooke azzeeyo abaserikale ba CMI babiri be yali nabo mu mmotoka alyoke akomewo bamuwe omukisa gw’okwogera naye. gattagatta ebiyinza okuba nga bye byavaako okuttibwa kwa Magara era mu bye batunuulidde, mulimu ne bizinensi za famire z’ebadde ekola.

John Fitzgerald Magara, ye nnannyini kkampuni ya Bwendero Dairy Farm esangibwa e Hoima ng’erina ne ofiisi mu Kampala ku luguudo Kabakanjagala mu maaso ga Bulange omugenzi we yali akolera era nga ye yali Maneja era nga y’avunaanyizibwa ne ku by’ensimbi.

Okusinziira ku nsonda mu byokweinda, kkampuni ya kitaawe wa Magara, yafuna ddiiru y’okutwala amata e Kuwait, muno baali baakuggyamu obuwumbi bwa ssente obusukka omunaana, kyokka kigambibwa nti, waliwo abaamupangira ddiiru eno nga waliwo omutemwa gwa mitwalo gya ddoola 80 (ezisukka mu buwumbi 3) ze yalina okubasasula wabula ne bafunako emitwalo gya ddoola 10 gyokka ab’ebyokwerinda kye bakyanoonyerezaako okuzuula obutuufu bwakyo n’okumanya oba nga kye kyavaako obuzibu.

Ekirala, Magara (kitaawe w’omugenzi) alina ettaka ddene e Hoima, lino, lyaliko abasenze, gye buvuddeko yagenda okwerula empenda ng’ayagala okuzimbako ekkolero lya sukaali kyokka n’afuna obuzibu n’abamu ku basenze. Yabasasula ne bavaako wabula tekimanyiddwa oba waliwo abataamatira nga be baasalawo okwesasuza. Abaserikale era baakitegeddeko nti, famire ya Magara erina ettaka ddene nnyo e Hoima Gavumenti lye yatwala kw’ezimbye enguudo n’ebintu ebirala, ettaka lino, famire ya Magara yali yaakuliyirirwa ssente nnyingi eziri mu buwumbi.

Tekimanyiddwa oba waliwo abaali baagala ssente zino abaasalawo okuwamba Magara. Bwe baamuwamba, baasaba akakadde kalamba aka ddoola mu za Uganda, Obuwumbi busatu n’obukadde 600 era abatemu nga bakubidde Kabajulizi essimu, baamugamba nti famire yammwe tugimanyi era tukimanyi bulungi nti ssente zino musobola bulungi okuzituwa.

Famire yasobola okufuna obukadde 700 ezaakyusibwa mu ddoola Flora Muganwa n’azitwala abatemu we baamulagira kyokka ne bamala ne batta Magara ekirowoozesa nti ekigendererwa tezaali ssente; okuggyako nga baamutta bafunye okutya nti abategedde nnyo ayinza okubaviirako okukwatibwa n’okusibibwa bwe bamuleka nga mulamu.

Oluvannyuma lw’okukizuula nti layini ezaakozesebwa mu butemu ezimu tezaali mpandiise, akakiiko ak’ebyempuliziganya (UCC) kaasisinkanye abaddukanya amakampuni g’amasimu era ne bawera okutunda layini z’amasimu ku makubo ne Airtime. Okusinziira ku banoonyereza ku musango guno, abatemu mu nnaku 4 ezasooka, baakozesa layini z’essimu zeezimu okukubira aba famire kyokka ku lunaku olwokutaano ne bazikyusa ne batandika okukozesa endala ate nga nazo bazikyusakyusa buli lunaku.

Taata yagamba nti olumu baamukubiranga tannasimbula waka ne bamutegeeza bye yabeeranga ategese okukola olunaku olwo n’abantu be yali ategeka okusisinkana ku lunaku olwo era ekyo kyamukanga nnyo. Yagamba nti ne bwe yagenda okusisinkana Pulezidenti Museveni, baamukubira essimu ne babimugamba ekyamuwaliriza n’okukyusa essimu n’akozesa endala wabula byonna tebyayamba.

Ebitongole ekya CMI ne ISO, bye biri mu kunoonyereza ku baserikale ba poliisi. Ensonda mu bitongole byombi zaategeezezza nti, baafunye amannya g’abaserikale babiri naye engeri gye baali batambuzaamu misoni yabwe, bateebereza nti, abaserikale abeenyigira mu kino basukka mu babiri.

Ku ntandikwa, waaliwo akaakuubagano wakati wa poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala era ebitongole ebirala byagobwa mu kunoonyereza ne kusigalamu poliisi yokka okutuusa Pulezidenti lwe yalagira CMI ne ISO okuttukiza okunoonyereza. Magara bwe yali yaakawambibwa, poliisi yakwata eyali muganzi we, Yusufu Muhindo ne mukozi munne mu Bwendero Dairy Farm (BDF), Scovia Kabugo nga kiteebereza nti baali balina kye bamanyi ku by’okuwambibwa kwa Magara kyokka oluvannyuma baayimbulwa. Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yategeeza nti, ababiri abo baabayimbulira ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw’okukola siteetimenti, kyokka yagaanyi okwogera ku baserikale baabwe ababiri abanoonyerezebwako ku bigambibwa nti beenyigira mu kkobaane ly’okuwamba Magara.

N’ABA FAMIRE BANOONYEREZEBWAKO

Ensonda zaategeezezza nti, balina okutya nti, abatemu abaawamba Magara ne bamutta kiteeberezebwa nti tebaakoma ku baserikale be baali bawuliziganya nabo ne bababbira ebyama, wabula ne mu famire kigambibwa nti baalinamu omuntu eyabayambangako mu ntambula z’abazadde ne bye bategeka okukola.

Omu ku baserikale ba poliisi bamayinja abali mu kunoonyereza kuno yagambye nti abatemu bandiba nga baali bamanyiganye n’aba famire ya Magara era nga kyandiba nga baafuna obutakkaanya ku nsonga ez’enjawulo ng’okuwamba muwala waabwe baali baagala kwesasuza ng’ekya ssente baakiyingizaamu buyingiza. Mu katambi akamu omutemu ng’ayogerezeganya ne Immaculate Kabajulizi muka kitaawe wa Susan Magara, yamutegeeza nti, famire agimanyi bulungi ne bizinensi zaabwe zonna azimanyi bulungi.

KIKI DDALA EKYAVAAKO OBUZIBU?

N’okutuusa kati, okunoonyereza kwonna ebitongole by’ebyokwerinda kwebiriko, abamu ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino bakwatiddwa wabula tewali kitongole kyazudde kituufu kyavaako kuttibwa kwa Magara. ISO enoonyereza era eriko abantu beerina mu kaduukulu kaayo, CMI nayo erina b’erina okuli ne Kanyankole ne poliisi erina be yakutteyo kyokka ensonda zaategeezezza nti mu bakwate bonna, temuli yaabatuusizza ku kituufu eky’enkomeredde. Abanoonyereza, bagezaako oku-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...