TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita wa Full Gospel ebyobugagga bya mukyala we bimukwasizza

Paasita wa Full Gospel ebyobugagga bya mukyala we bimukwasizza

Added 13th March 2018

POLIISI ekutte paasita lwa kujingirira biwandiiko n’ekigendererwa ky’okutwala eby’obugagga bya mukazi we eyafa.

Paasita Zziwa ne mukyala we Dr. Namutebi ku mbaga yaabwe.

Paasita Zziwa ne mukyala we Dr. Namutebi ku mbaga yaabwe.

Paasita Samuel Bashan Zziwa, omubuulizi w’enjiri mu kkanisa ya Full Gospel Church e Makerere ye yakwatiddwa ku bigambibwa nti yajingiridde ebiwandiiko ng’ayagala okubikozesa okufuna obuyinza ku byobugagga bya mukazi we Dr. Agnes Namutebi eyali omusomesa mu Yunivasite e Makerere eyafa nga July 12 2017.

Okujingirira ebiwandiiko kigambibwa nti yakukola ayambibwaako looya, paasita mukwano gwe ne ssentebe w’ekyalo.

Okukwatibwa kwa paasita Zziwa kyaddiridde aba famire ya Dr. Namutebi okuzuula fayiro gye baabadde batutte mu kkooti e Makindye ng’asaba aweebwe obuyinza obwenkomeredde ku bintu bya mukazi we kyokka nga ataddemu n’ebya taata w’omugenzi Polof. Henry Ssekaalo eyali akulira Chemistry Department ku yunasite e Makerere.

Ettaka lye yabadde attaddeko lisangibwa Seguku ku luguudo lw’e Ntebe.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti okunoonyereza poliisi kw’eriko yakizudde nti Zziwa okujingirira ebiwandiiko yakikola ng’ayambibwako bannamateeeka okuli, Moses Musoke owa kkampuni ya SOMMA Advocates ng’ono yamuyamba okubaga ebiwandiiko ne ssentebe wa Bombo Road Zooni e Nakasero Ward III, Jean Bakamweta.

Yagambye nti mu biwandiiko Zziwa bye yajingirira mulimu; ebiraga nti aba famire ya Namutebi bakkaanya okumukkiriza okutwala ebyobugagga by’omugenzi.

Yajingirira emikono gy’abamu ku bafamire ng’alaga nti baatuula mu lukiiko nga July 20, nga kino yakikola ne ssentebe Bakamweta .

Yategeezezza nti Zziwa era yakwatagana ne munnamateeka Musoke ne paasita Bilton Alex Allan Opio ow’ekkanisa ya Kyanja Divine Evangelist Church ne bawandiikira maneja wa banka ya Centenary ow’ettabi lya Ntebe Road nga bamusaba obutakkiriza muntu kukozesa akawunta y’omugenzi okuggyako Zziwa eyali anaatera okufuna obuyinza ku akawunti eno.

Akawunti Namutebi ze yalina mu bbanka kuliko eri mu ddoola n’endala nga eri mu ssente za Uganda era nga mu kuwandiika ebbaluwa eri maneja wa bbanka baawererezaako n’ebbaluwa era nti nnannyini akawunta Dr. Namutebi yafa nga byonna bye yaleka birina kudda mu mannya ga Zziwa.

Looya Musoke yawandiikira akulira ekitongole kya National Social Security Fund( NSSF) n’awa kkopi ofiisi ekola ku kasiimo ng’asaba ekugire omuntu yenna okuggyayo akasiimo ka Namutebi kuba Zziwa y’alina okuddukanya akawunti ng’alindiridde bbaluwa ezimuwa olukusa olujjuvu.

Ssekate yagambye nti ebbaluwa zonna Zziwa yatandika okuzitambuza nga waakayita wiiki emu yokka nga Dr. Namutebi afudde kyokka ng’aba famire tebaali bamativu ku ngeri omuntu waabwew gye yafaamu.

Paasita Zziwa 50, yakkiriza nga bwe yajingirira ebiwandiiko ng’agezaako okufuna akasiimo ka mukyala we era aba famire y’omugenzi abadde wakubategeeza ng’amaze okukola buli ekyetaagisa.

Looya Musoke yategeezezza nti paasita Opio yamutuukirira n’amutegeeza nga bw’ayagala okumuyamba okuwandiika ebbaluwa eri maneja wa bbanka n’akulira NSSF ng’ayagala okulaba ng’aweebwa obuyinza ku ssente za mukazi we, nga wano weyakoma.

Ssentebe wa Bombo Road Zooni era omusomesa ku Buganda Road Primary School Bakamweta yagambye nti paasita Zziwa yamusaba okumuteera omukono ne sitampu ku lupapula okwali amannya g’abantu wabula nalemwa okunnyonnyola ku biwandiiko ebirala bye yassaako omukono.

Opio yagambye nti okujingirira ebiwandiiko kwakolebwa paasita Zziwa nga ye yafuna abantu abassa omukono ku biwandiiko nga ne ssentebe Bakamweta yabirimu.

Paasita Zziwa, paasita Opio, Musoke ne Bakamweta baakwatiddwa ne bakola sitetimenti ku poliisi e Wandegeya oluvannyuma lw’okuggulawo omusango oguli ku fayiro nnamba GEF 12/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu