TOP

Omuyimbi Maureen Kabasiita anoonya musajja!

Added 14th March 2018

OMUYIMBI Maureen Kabasiita eyalwananga ne Iryn Namubiru olw’omusajja bwe baali bakyali mu bbandi ya Fusion, avuddemu omwasi n’ategeeza nti, Namubiru yamusinga kati anoonya musajja wuwe w’omu.

 Maureen Kabasita

Maureen Kabasita

Kabasiita ye yayimba Akasengejja, we yabeerera ow’amaanyi era nga y’akulira bbandi ya Fusion ng’obuyinza tebunnamugyibwako eyali nnannyini bbandi eno, Capt. John Kasami n’abukwasa Namubiru.

Yasangiddwa ku wooteeri ya Serena n’ategeeza omusasi ono nti asazeewo agende mu mawulire anoonye omusajja kubanga abandimukwanye bonna bamutya nga balowooza nti engeri gy’ali ‘ssereebu’ alina abasajja bangi so ng’ekituufu talina.

Kabasiita yagambye nti bino bye bisaanyizo by’omusajja gw’ayagala; Ssente; njagala alina ssente ezimala.

Obulungi; Alina okuba ng’alabika bulungi saagala mubi kubanga nange ndi mulungi. Emyaka; Alina okuba ng’asukka emyaka 45.

Eddiini; Kasita tabeera Mukatoliki kubanga bah− hamba nti abantu abo balina eddiini nnyingi ebalemesa okubeera abangu.

Njagala yenna akkiririza mu Katonda nga takuliriza nnyo bya ddiini nga Bakatoliki. Langi; Njagala omusajja omuddugavu kubanga nze ndi mweru.

Sayizi; njagala mutonotono kubanga abanene mbalabye ng’ebiseera ebisinga, nedda… Obuyigirize; Njagala eyabugumizibwako ne bw’aba teyasoma nnyo. Abaana; Nange ninayo omwana era sifaayo bw’aba naye alina.

Bw’aba alinayo omukazi omulala; Oyo aba agenda kunnumya nga taliiwo nandyagadde anampa obudde.

Kiki ekibaddenga kikulemesa okufuna omusajja; Mbadde sinnasanga wa bisaanyizo byange ate nga bangi bantya. Omaze bbanga ki nga tolina musajja; Emyaka etaano.

Obeera wa; Mbeera Ntebe. Okolaki kati; Nnina bbandi. Obadde wabulira wa? Ntera okugendako e Nigeria ne ndaba ku mikwano gyange naye sirinaayo basajja ng’abamu bwe balowooza.

Olwo abakwagala bakufuna batya? Ndi ku 0752619575.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...