TOP

Ssemaka bamuteze obutwa ne buttamu omwana

Added 14th March 2018

OMUNTU ow’ettima awadde Famire obutwa obusse omwana ow’omwaka ogumu gwokka ate kitaawe n’atwalibwa mu ddwaaliro e Namuwongo ng’ali bubi.

 Abatuuze nga bakung’anidde mu maka ga Onyek.

Abatuuze nga bakung’anidde mu maka ga Onyek.

BYA GERALD KIKULWE

Ekikangabwa kino kyagudde mu zooni 12 e Kitintale mu Munisipaali ya Nakawa omusirikale wa UPDF Julius Onyeku y’apookyeza mu Ddwaliro lya International Hospital Kampala e Namuwongo oluvannyuma lw’okulya obutwa obwamutegeddwa mu mmere gye yawaddeko ne mutabaniwe Nethan Enyeku omwaka ogumu n’emyezi 8 eyafiiriddewo nga yakatuusibwa mu Ddwaliro.

Jesca Bayiga muliranwa wa Onyeku agamba nti ku lunaku lwa Sande essaawa nga musanvu n’ekitundu, Onyeku ne bakyala be okuli mukyala muto amanyiddwa nga Maama Gado kati akuumirwa ku Poliisi y’e Kitintale ne mukyala mukulu Nalongo Ruth, baategese eky’emisana wabula oluvannyuma mukyala muto teyasoose kulya n’atoola ku mmere y’emu n’agenda okukyalira abaana be ku ssomero bw'atyo n’alekawo mukyala mukulu eyasazeewo okugoyerawo bba emmere y’akalo ke yamugabudde n’abalala okuli omukozi ataategeerekese mannya, Winnie Ekyedita muwala w’awaka omukulu baasigadde balya emmere eyafumbiddwa okusooka ne mukyala muto.

Agattako nti mukyala mukulu bwe yawadde omwami we emmere y’akalo, n’ayingirako mu Kisenge yagenze okuvaayo ng’omwana ono omuto eyabadde tamanyi kigenda mu maaso alese emmere gye yabadde alya n’agenda okulya ku ya Taata, era mbu maama bwe yavudde mu Kisenge n’asanga omwana ng’alya ne kitaawe yamuboggoledde nnyo olw’okulekawo emmere ye n’asalawo okulya ne Kitaawe.

Bayiga agamba nti amangu ddala omwana yagudde eri amaaso ne galaga ebyeru, n’amuyoola yoola paka mu Kisenge nga bw’akowoola Yesu n’okugoba emizimu, wabula yalabye embeera etabuse n’amuddusa mu ddwaliro lya Benedikit e Kitintale gye yafiiridde era ne Maama n’azirika kati ali mu Ddwaliro lya Alive Medical Services e Namuwongo.

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okulaba mukyala mukulu  ng’addusizza omwana mu Ddwaliro yayingidde ewa Afande abuuze ogubadde yasamusanze naye agudde eri ng’ava ejjovu mu kamwa, kwe kutumya amata amabisi n’amuyiwayo n’oluvannyuma n’addusibwa mu Ddwaliro wabula na kati tamanyi biri ku nsi.

Issa Tabaalo Kavuma akola ku by’okwerinda mu Zooni eno yavumiridde nnyo ettemu lino era n’agamba nti newankubadde wabeerawo obutakkaanya naye okusaanyawo obulamu bw’omuntu si kye kyokuddamu era n’agamba nti ekkobaane lino liri mu ba Famire bennyini.

POLIISI EYOGEDDE

Rose Kigozi akulira Poliise y’e Kitintale agamba nti ensonga nti baatandise dda okunoonyereza ku nsonga eno era ne mukyala mukulu bw’anadda engulu waakukwatibwa anyonnyole. Agattako nti ssefuliya, emmere eyafisseewo n’essuwaani omwabadde emmere baabitudde mu Ddwaliro lya Poliisi e Wandegeya okwekebejjebwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.