TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali mu lukwe okutta Magara bamukwatidde South Africa

Eyali mu lukwe okutta Magara bamukwatidde South Africa

Added 16th March 2018

AB'EBYOKWERINDA e South Africa bakutte omusajja Agaba omu ku bateeberezebwa okwenyigira mu kuwamba n’okutta Susan Magara.

 Agaba eyakwatiddwa

Agaba eyakwatiddwa

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Gavumenti ya wano bwe yafunye amawulire g’okukwatibwa kwa Agaba, n’esindika abasirikale e South Africa okulaba engeri Agaba gy'azzibwa mu Uganda ku by’okuttibwa kwa Magara.

Kigambibwa nti, Agaba amanyi bulungi famire ya Magara era kino yakyeyambisa okukolagana n’abatemu abaawamba n’okutta omugenzi.

Ab’omu famire ya Magara balumiriza nti, eddoboozi eryali mu butambi obw’enjawulo obwali busaba ssente n’okulagirira abazadde we baasuula akaveera akaalimu engalo z’omugenzi lyali lya musajja ono Agaba.

Omulambo gwa Magara gwazuulwa nga February 24, 2018, enkeera waalyo Agaba lwe yalinnya ennyonyi n’agenda e South Africa okusinziira ku biwandiiko ebyafuniddwa.

Agaba ono yali amaze ebbanga ng’abeera South Africa oluvannyuma lw’okudduka mu Uganda ng’amaze okuzza emisango omwali n’okuwamba omuwala omu.

Kyokka ensonda mu poliisi zaategeezezza nti wakyaliwo obuzibu okuzza Agaba mu Uganda kubanga amawanga g’ombi South Africa ne Uganda tegalina ndagaano ya kuwaanyisiganya basibe noolwekyo enteeseganya ziyinza okutwala akabanga akawerako okusobola okuzza omusajja ono mu Uganda.

Wabula ensonda mu poliisi zaagaanyi okunnyonnyola engeri Agaba gye yatwatiddwaamu n’okwogera ekkomera mw'akuumirwa mu kiseera kino nga bagamba nti, kiyinza okutaataaganya enteeseganya ezigenda mu maaso okuzza Agaba mu Uganda.

Omulimu omutuufu Agaba gw'akola e South Africa tegumanyiddwa kyokka abadde atera okukomawo mu Uganda ng’abeera mu bulamu bwa kuyiwaayiwa ssente omuli okucakalira mu bifo eby’ebbeeyi n’okuvuga mmotoka okuli amannya ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...