TOP

Amataba gasse basatu e Mbarara

Added 16th March 2018

POLIISI mu disitulikiti e Mbarara ekakasizza ng’abantu basatu bwe bazuuliddwa nga bafiiridde mu mataba agavudde ku nnamuttikwa w’enkuba eyatonnye mu kiro ekyakeesezza Olwokuna mu kibuga Mbarara n’emiriraano.

 Abantu nga bali ku Rwizi Arch balindiridde poliisi okubabuulira by'ezudde

Abantu nga bali ku Rwizi Arch balindiridde poliisi okubabuulira by'ezudde

Amataba gaazinzeeko enguudo ez’enjawulo mu Mbarara ne gatwala abantu abamu abaabadde bava mu kibuga okukola era bangi na buli kati tebamanyiddwaako mayitire.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Rwizi, Samson Kasasira ategeezezza nti, poliisi yagezezzaako okutaasa abantu, n’ebintu byabwe era baggye pikipiki ttaano mu mataba ng'amazzi gazitwala.

Omwo mwe baasanze n’abantu babiri abaabadde bafiiriddewo wabula n’ategeeza nti bakyanoonya abalala.

Yo wooteeri ya Rwizi Arch esangibwa mu kabuga k’e Rwebikona, amataba gaagiyiseemu n’abantu abamu ne gabatwala.

Martha Asiimwe, RDC ategeezezza nti, kibi nnyo abantu okufa mu ngeri eno n’ategeeza nti ekitongole kya NEMA, kirina okunnyonnyola engeri gye kyakkirizaamu omugagga wa Rwizi Arch, okuzimba mu kkubo ly’amazzi kubanga eriraanye omugga Rwizi.

Waliwo ne nnamukadde ow’emyaka 94, Irene Koruo ow’e Karubanda mu ggombolola y’e Masha mu disitulikiti y’e Isingiro, ayafiiridde mu nnyumba ye oluvannyuma lw'amazzi okugisuula n'emukuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...