TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool awadde ensonga 5 ezimufudde ow'enjawulo ku banne

Bebe Cool awadde ensonga 5 ezimufudde ow'enjawulo ku banne

Added 17th March 2018

Bebe Cool awadde ensonga 5 ezimufudde ow'enjawulo ku banne

 Bebe Cool ng'awayaamu ne Bukedde e Kiwatule

Bebe Cool ng'awayaamu ne Bukedde e Kiwatule

OLUVANNYUMA lwa Bebe Cool okumaliriza ennyumba ye ssaako n'okulaga endala gy'azimba ebalirirwamu obuwumbi obusukka mu busatu, alaze emitendera mwazze atambulira okusobola  okufuna ebintu nga bino.

1 Mu mboozi eyakafubo ne Bukedde, Bebe Cool agambye nti kuva dda yali akimanyi bulungi nti ajja kussaawo ebizimbe amatiribona naye eyo si ye project gye yali ayagala okutandikirako mu bulamu. Yayagala nnyo okusooka okuyamba ku banne naddala abo bazze atoba nabo mu kisaawe ky'okuyimba era musanyufu nnyo nti ekyo akikoze awatali kusosola. 

Bba wa Zuena anokoddeyo abamu ku bayimbi bazze ayamba omuli Bobi Wine, Sylivia Kyansuti, Rema Namakula n'abalala bangi mu ngeri y'okubazimba ng'akozesa ssente ze okussa mu nnyimba zaabwe ssaako ne studio mwe baakwatiranga ennyimba zaabwe era musanyufu nnyo nti kati balina webatuuse okuva mu ntuuyo ze.

Kino ssaakikolanga lwakuba nnali njagala nnyo okweraga wabula nnakiraba nti omulimu gwe tulimu ogw'okuyimba gw'amaanyi nnyo twetaaga okusitula omutindo okuyimba tukufuule omulimu ogw'egombesa buli muntu naddala abo abavubuka abatalina mirimu.

2 Emabegako waaliwo olutalo wakati w'abayimbi ne ba DJ ng'olutalo luli ku mutindo gwa music gwe tufulumya n'enkizuula nti engeri yokka gye tusobola okusitula omutindo gwa music waffe okusobola okuvuganya obulungi ku mutindo gw'ensi yonna kwali kussa ssente mu videos era yensonga lwaki nkwata emitwalo gya dollar 2 n'enkola video kubanga kino nvudde mabega nga nkizimba era nga ngoberera ekisaawe ky'okuyimba engeri gye kitambulamu

Ennyumba ze Bebe Cool zeyamaze okuggyako engalo

Bw'obeera wetegerezza mu kiseera kino abayimbi aba'maanyi okuva mu mawanga amalala omuli Nigeria, South Africa n'amawanga amalala kati begomba nnyo okuyimba ne bannayuganda ekitaaliwo mu kusooka naye ebyo byonna Bebe Cool mbirwaniridde ng'omuntu era ndi musanyufu kubanga amaanyi gange ne ssente zange tebifudde togge"Bwatyo Bebe bw'ategeezezza

Cool awadde abavubuka amagezi abalowooza nti okuzimba ku myaka emito ky'ekisinga obukulu,kati kye kiseera bamulabirako era babeeko ebintu bingi bye bamuyigirako ebimuyambye okututumuka mu mbeera yonna.

Emu ku mmotoka za Bebe Cool

3 Bebe awadde eky'okulabirako nti singa abavubuka babiri babeera n'obukadde 100 buli omu, omu n'azizimbamu ennyumba ey'okusulamu  zonna wabula omulala ku bukadde 100 n'apangisaako ennyumba ya million 1 okumala omwaka gumu kitegeeza nti ku million 100 asigazzaawo obukadde 88 bw'asobola okukolamu bizinensi eyinza okumuwa amagoba.

Singa amagoba gano abeera agakung'aanyizza mpola mpola oluvannyuma n'azimbamu ennyumba kiba kikola nnyo amakulu era tekikwewuunyisa nti oli eyakwata obukadde 100 bwonna n'abuzimbamu ennyumba ayinza okufundikira ng'fuuse mukozi wooli eyakola buzinensi olw'ensonga nti ye aba alina waggya ensimbi ez'okumusasula n'okusigala ng'agenda mumaaso.

 

4 Njagala mbeere eky'okulabirako ekirungi eri abavubuka abalowooza nti okuzimba ennyumba ezisulwaamu ku myaka emito kwekweggya mu bwavu,okuvuma Gavumenti kwe kweggya mu bwavu n'okulinnya ennyonnyi kwe kweggya mu bwavu ago amakubo babeera bakutte mafu nnyo.

5 Abavubuka balina okuyiiya mu ngeri entuufu, okubeera n'ebirowoozo ebituufu ate nga bizimba, okuwa abantu ebitiibwa, okwewala ebigambo by'abantu eby'ogerwa okubaggya ku mulamwa, okubeera abaguminkiriza n'okulemera ku pulaani zaabwe zebabeera nazo mu bwongo, okukulembeza katonda mu buli kyebakola ezo zeezimu ku nkola eziyinza okubayamba okufuuka abantu abamaanyi mu nsi era nange bye binnyambye" Bwatyo Bebe Cool bw'ategeezezza

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.