TOP

Ensonga 6 ezaawanguzza NRM e Jinja

Added 17th March 2018

Ensonga 6 ezaawanguzza NRM e Jinja

 Mwiru nga baakamala okumulangirira. Ku kkono ye Ingrid Turinawe.

Mwiru nga baakamala okumulangirira. Ku kkono ye Ingrid Turinawe.

OBUWANGUZI bwa Paul Mwiru (FDC) mu kalulu k'e Jinja Municipality East bwesigamye ku nsonga enkulu mukaaga ezaamuwanguzza Nathan Igeme Nabeta (NRM) bwe babadde basinga okuttunka.

Rogers Sserunjogi akulira ebyokulonda e Jinja yalangiridde Mwiru ku buwanguzi ku ssaawa 3:45 ez’ekiro ku Lwokuna ekyasaanudde abawagizi be ne babinuka okukeesa obudde. Mwiru yafunye obululu 6,654 ate Nabeta bwe babadde basinga okuttunka n’afuna 5,043. Abalala kwabaddeko Monica Abuze eyafunye 18, Hatimu Isabirye 7, Faisal Mayemba Masaba 117, Paul Mugaya (PPP) 48, Richard Henry Nyanzi 47 ne Francia Wakabi 48.

Akalulu kaddiddwaamu oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa Nabeta bwe yali afunye mu kulonda kwa 2016, mwe yafunira obululu 7,770 ate Mwiru n’afuna 7,635. Kkooti yategeeza nti okulonda kwetabikamu obuvuyo. ENSONGA OKWESIGAMYE

OBUWANGUZI BWA MWIRU KULIKO;

Obumu obwayoleseddwa bannabyabufuzi abooludda oluvuganya. Ebibiina ebivuganya byonna ng’oggyeeko ekya PPP tebyasimbyewo bantu era bonna baabadde bawagira Mwiru. Okuva kkampeyini lwe zaatandika bannabyabufuzi nga; Dr. Kizza Besigye, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Mugisha Muntu n’abalala babadde tebava Jinja. Ekiseera ekyategekeddwaamu akalulu kyabadde tekiwa Nabetankizo. Babadde bamulumiriza okwetumiikiriza nga tabeebuuzizzaako n’awagira okukwata ku Ssemateeka.

Bagamba nti yeebuuza ku bukiiko bwa NRM bwokka era nga bamukimugamba kaati nti agende be baba bamulonda. Mwiru yakoze buli ekisoboka okukuuma akalulu ke. Ttiimu eyabadde ekuuma eyakuliddwa omubaka wa Kira munisipaali, Ibrahim Ssemujju Nganda.

Obwedda buli kifo we balondera nga waliwo bannabyabufuzi abataseguka okulaba nga buli kimu kitambula bulungi. Obwedda beekengera buli muntu nga tebakkiriza wadde emmotoka yonna okusembera we balondera. Abayimbi abangi ababadde bajjumbira enkuhhana ze nga; Stabua Natooro, Geofrey Lutaaya, Ronald Mayinja, Eddy Yawe, Dr. Hilderman babadde bakuhhanya abantu mu bungi. Wadde Nabeta naye abadde aleeta abayimbi nga Dr. Jose Chameleon ne Catherine Kusaasira kyokka babadde tebasikiriza nnyo bantu.

Abamu ku baganda ba Nabeta ababadde bawagira Mwiru baamuwadde enkizo. Moses Hannington Kyemba muganda wa Nabeta bwe bagatta kitaabwe omugenzi Samson Nabeta abadde ayogerera mu nkiiko za Mwiru z’azze ategeka. Kyemba buli lw'abadde akwata akazindaalo ng’alumiriza Nabeta okwezza emmaali ya kitaabwe ate tabawa kitiibwa nga famire.

Abadde agamba nti ne mu famire yaabwe tayinza kuwangulayoabasinga bawagira Mwiru. Nabeta babadde bamulumiriza okubeera omusirifu ekiseera ky'amaze mu Palamenti atasobola kwatula nsonga ate nga Mwiru we yabeererayo baamuwuliranga ng'atuusa ebizibu byabwe mu lukiiko lw'eggwanga.

Mwiru yagambye nti akalulu ng’abooludda oluvuganya kaabawadde essomo nti singa bakolera wamu basobola okukyusa Gavumenti. Yagambye nti okusomoozebwa kwe baasanze baasobodde okukuvvuunuka kuba abantu baategedde obuvunaanyizibwa bwabwe mu kalulu bwe baalonze era ne beetaba mu kukakuuma.

OWA NRM AYANUKUDDE Rogers Mulindwa, omwogezi wa NRM mu ggwanga yategeezezza nti, bagenda kwetegereza ekyabawanguzza balabe ekiddako. Yagasseeko nti, wadde baawanguddwa naye basigala nga bawanguzi kuba NRM esobodde okuwangula okulonda emirundi 23 ku 31 egy’obululu obuzze buddibwamu nga kw’otadde ne disitulikiti ezitondeddwaawo.

Mu kulonda kuno ekibiina kya FDC kibadde tekiwangulangako ate DP kyawangula ekifo kimu kyokka eky’omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kyotera. Yagumizza abantu nti NRM ekyalina enkizo era ekibiina kikyali kinene.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...