TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssekandi akunze aba gavumenti z'ebitundu okulondoola omutindo gw'ebyenjigiriza mu masomero.

Ssekandi akunze aba gavumenti z'ebitundu okulondoola omutindo gw'ebyenjigiriza mu masomero.

Added 18th March 2018

Ssekandi akunze aba gavumenti z'ebitundu okulondoola omutindo gw'ebyenjigiriza mu masomero.

Kiwanda (ow’okubiri ku kkono) ng’alambuza Ssekandi (mu ssuuti). Ku kkono ye mubaka Judith Nabakooba.

Kiwanda (ow’okubiri ku kkono) ng’alambuza Ssekandi (mu ssuuti). Ku kkono ye mubaka Judith Nabakooba.

OMUMYUKA wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi asabye abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu okussaayo omwoyo okulondoola pulojekiti ezikolebwa gavumenti eya wakati mu bitundu byabwe okulaba ng’ensimbi za gavumenti tezifa ttoge.

Ssekandi era yagambye nti nga gavumenti efuba okulaba ng’amasomero gabeera n’ebikozesebwa nga kaabuyonjo,amazzi, amayumba g’abasomesa,emmeeza n’entebe abayizi kwe batuula n’obutabo obusomerwamu , abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu balina okulaba ng’omutindo gw’ebyenjigiriza mu bitundu bye bakulembera gubeera waggulu.

Bino Ssekandi yabyogeredde ku ssomero lya Kibale Primary School mu ggombolola y’e Bulera e Mityana ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’okulakulanya essomero lino. Kwe yasinzidde okusaba gavumenti z’ebitundu okuba n’olukalala lwa pulojekiti za gavumenti ezikolebwa mu bitundu byabwe n’okuzirondoola okulaba ng’ensimbi z’omuwi w’omusolo tezoononebwa abantu baziganyulwemu.

Ssekandi ng’abuuza ku bayizi ku mukolo gw’okusonda ssente.

Yagambye nti kyetaagisa eggwanga okussa essira ku by’enjigiriza kuba biyamba eggwanga okukunga abantu okwekulakulanya n’okukyuka.

Ssekandi yawaddeyo obukadde kkumi okuddaabiriza essomero lino  n’asaba abazadde okussaayo omwoyo okukolagana n’abasomesa okulaba ng’abaana baabwe bayiga bulungi.

Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’essomero Rev. Richard Kabagozza yagambye nti essomero lino bukyanga litwalibwa gavumenti mu myaka gy’ekinaana terizimbirwanga kizimbe kitegerekeka era n’ekizimbe kyokka ekya bbulooka ekiri ku ssomero tekimalirizibwanga.

Ssentebe w’e Mityana Joseph Luzige yagambye nti enguudo mu kitundu ziri bubi  n’asaba gavumenti okuyamba.Omukolo gwabaddeko minisita w’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda n’omubaka w’e Mityana omukazi Judith Nabakoob

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengedo alayiziddwa ku...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo  akulir...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...