TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eraze abeekiise mu by'okuzza agambibwa okwenyigira mu kutta Magara

Poliisi eraze abeekiise mu by'okuzza agambibwa okwenyigira mu kutta Magara

Added 20th March 2018

BAMBEGA ba poliisi abanoonyereza ku muvubuka Patrick Agaba alumirizibwa okuwamba n’okutta Suzan Magara bagambye nti waliwo Bannayuganda mikwano gya Agaba abayingidde mu lutalo lw’okumulwanirira okukakasa nti tazzibwa mu Uganga kuvunaanibwa.

Susan Magara

Susan Magara

Kigambibwa nti abantu bano abamulwanirira bebamu ku b’abadde yeenyigira nabo mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka e South Africa era beebaamufunidde bannamateeka abamuwolereza mu kiseera kino okulwanyisa eky’obutazzibwa mu Uganda kuwozesebwa.

Eggulo Agaba yabadde wakuzzibwa mu kkooti ya John Foster e South Africa era nga yafunye bannamateeka abamu ku basinga obulungi mu kowoza emisango gya nnaggomola.

Gavumenti ya Uganda yasindika ttiimu ya bambega e South Afrika okukola ku nteekateeka zonna n’okwogerezeganya ne Gavumenti ya South Afrika okumukomyawo kuno kyokka, Agaba okwetaasa, yaddukidde mu kkooti ng’awakanya eky’okumukomyawo ne banne gye baamweyungiddeko.

“Tujja kukola ekisoboka kyonna okukasa nti omuntu eyatemula omuwala akomezebwawo kuno avunaanibwe,” ensonda mu poliisi bwe zaategeezezza.

Agaba gavumenti ya South Africa nayo erina emisango gy’emuvunaana omuli okubba mmotoka ez’ebbeeyi n’azireeta mu Uganda wamu n’okwenyigira mu bikolwa eby’obufere mw’abbidde abantu abawerako naddala bannansi ba South Africa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.