TOP

Amagye gongedde okunyiga Abdallah Kitatta

Added 20th March 2018

AMAGYE gongedde okunyiga Abdallah Kitatta kkooti bw’emutegeezezza nti waakwongera okukuumirwa mu kkomera lya miritale kuba okumutwala e Luzira kya bulabe eri obulamu bwe.

 Kitatta (mu kyenvu) ne banne mu kaguli.

Kitatta (mu kyenvu) ne banne mu kaguli.

“Kitatta ebibi bye wakola ku bantu obimanyi bwe tukutwala e Luzira ojja kufuna obuzibu okuva mu bantu be wakolako obuzibu’,’ akulira kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti bwe yategeezezza Kitatta eggulo mu kkooti y’amagye e Makindye gye yabadde azziddwa okuwulira omusango gwe we gutuuse.

Looya wa Kitatta, Emmanuel Turyomwe yasoose kusaba kkooti nti bwe kiba kisoboka, Kitatta aggyibwe mu kkomera e Makindye azzibwe e Luzira kuba ayisibwa bubi.

Kitatta yayongerezzaako nti alina obulwadde obw’amaanyi obwetaaga obujjanjabi obw’amaanyi nga Luzira yokka gy’ayiza okuyambibwa.

Kyokka Lt. Col. Gutti bino yabiwakanyizza n’agamba nti ekkomera ly’e Makindye lirina obusobozi obumala okujjanjaba obulwadde bwa Kitatta n’ayongera okumujjukiza obuteerabira bintu by’abadde ajja akola ku bantu bennyini ng’abamu bali Luzira gy’asaba okugenda.

Bwe byatuuse wano Kitatta yalabise ng’akkirizza ebyamutegeezeddwa era yanyenyezza omutwe mu ngeri y’okwewuunya ensi era oluvannyuma lwa byonna, baamuzzizzaayo mu kkomera e Makindye okutuusa lw’anazzibwa mu kkooti.

Bino nga tebinnabeerawo, omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Maj. Raphael Mugisha yategeezezza kkooti nti, okunoonyereza ku musango kuwedde n’asaba omulamuzi olunaku lwa April 17 lwe baba batandika okuguwulira kyokka Gutti n’ategeeza nti, taliiwo ku lunaku olwo n’awa olwa April 23.

Wabula munnamateeka akulira oludda lwa Kitatta, Shaban Sanywa yeemulugunyizza nti oludda oluwaabi terubayisizza bulungi n’awa eky’okulabirako nti ssentebe wa kkkoti yawa ekiragiro baweebwe obujulizi babuyitemu kyokka n’okutuusa kati tebalina kintu kyonna kye baali bafunye ku nsonga eno.

Wabula Maj. Mugisha yamwanukudde mangu nti, byonna bye beetaaga bagenda kubifuna nga April 15 basobole okwetegeka.

Bano era baabadde basabye n’ebimu ku bintu ebyakwatibwa nga tebirina kakwate ku musango biddizibwe aba famire Gutti n’abagamba nti, bajja kugenda ne Maj. Mugisha ku CMI bakole ku nsonga eyo.

Kitatta yakwatibwa ne basajja be 12 okuli; Ngobi Sowali, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, Johnson Kayondo, Hassan Ssengoba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja.

Eggulo, Kitatta yabadde mucamufu nnyo ng’aleetebwa mu kkooti, okwawukanako n’omulundi gwe yasemba okuleetebwa lwe baamuteeka ku njegere.

Eggulo baamuleetedde ku mpingu z’oku mikono nga bamusibye n’omujaasi era olwafulumye mmotoka y’amagye, n’awanika engalo nga bw’awaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...