TOP

ISO ekunyizza Benz ku nkolagana ne Agasirwe

Added 20th March 2018

BAMBEGA bongedde okukunya Benz nga bamubuuza enkolagana ye ne SSP Nixon Agasirwe.

 Nixon Agasirwe ng’atuusibwa miritale ku kkooti. Mu katono ye Benz

Nixon Agasirwe ng’atuusibwa miritale ku kkooti. Mu katono ye Benz

Kigambibwa nti mu kumulinnya akagere nga bagenda okumukwata kyazuulwa nga Benz yali agenda nnyo mu maka ga Agasirwe e Mbalwa Namugongo.

“Komanda Benz” nga banne bwe batera okumuyita yakwatiddwa abaserikale b’ekitongole kya ISO nga bagamba nti alina ky’amanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi.

Baakwatiddeko n’abantu abalala basatu okuli n’agambibwa nti ye yavuga pikipiki abatemu kwe baatambulira.

Benz ayogerwako ng’omusajja atali mwangu era akozesa amannya agawerako omuli Ashiraf Mushabe, Oris Tushabe ne Christ Tushabe ne Christ Tumushabe.

We baamukwatidde yabadde akozesa lya Kuraish Tushabe Munyangondo. 

Yasooka mu ADF wabula bwe yaweebwa ekisonyiwo n’aweebwa n’emmundu okumukuuma, ate nti n’atandika okugikozesa okuteega abantu okubba era emisango bwe gyamusinga n’asindikibwa e Luzira gye yavudde mu 2014 nti n’atandika okukola ne poliisi.

Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Benz baamubuuzizza nnyo ku ngeri gye yakwataganamu ne Agasirwe eyali akulira ekitongole kya poliisi ekya Special Operations Unit kyokka nga kati ali mu kuttunka n’emisango gye baamuggulako mu kkooti y’amagye.

Aba ISO era banoonyereza ne ku ngeri gy’abadde akolagana ne boofiisa abalala n’emirimu gye babadde bamutuma.

Abaserikale ba ISO bagamba nti omusajja ono abadde yayingizibwa mu poliisi mu ngeri ey’ekimpatiira era nga baamuteeka ku ddaala lya Police Constable ng’akola mu bikwekweto eby’amaanyi.

Bamukunyizza ku ttemu lya Joan Kagezi ne Maj. Kiggundu

 Bamubuuzizza ne ku ttemu eddala lye bamuteebereza okwenyigiramu okuli okutta Joan Kagezi ne Maj. Mohammed Kiggundu.

Ensonda zaategeezezza nti fayiro ku bye bakung’aanyizza ku Benz ne banne be baamukutte nabo yaweerezeddwa ewa Dayirekita wa ISO Col. Kaka Bagyenda agiyitemu era oluvannyuma asalewo ekiddako.

Wabula muganda wa Benz ayitibwa Deus Mwebaze omutuuze w’e Kasokoso nga muvuzi wa bodaboda agamba nti omuntu waabwe azze alondoolwa okuva lwe yayimbulwa e Luzira.

Yagambye nti bwe yawulidde nti bamutaddeko eby’okutta Kaweesi yakyewuunyizza kubanga okuva lwe yava mu kkomera abadde mukkakkamu nnyo, nga teyeeriraanya bamenyi b’amateeka.

Wabula ISO eteebereza nti Benz y’omu ku bantu abaakubira ddala Kaweesi amasasi agaamutta nga March 17, 2017 ne gatwaliramu n’omukuumi we ne ddereeva we e Kulambiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...