TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala gwe baakutte ne Barbie Jay annyonnyodde enkolagana yaabwe: 'Ndi muzinyi we'

Omuwala gwe baakutte ne Barbie Jay annyonnyodde enkolagana yaabwe: 'Ndi muzinyi we'

Added 20th March 2018

Omuwala ono gwe twasanze ku Calender Hotel e Makindye bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Barbie Jay ne kye baabadde bakola mu mmotoka, yasoose kutegeeza nti ye muzinyi wa Barbie Jay era mu mmotoka baabadde bawummuddemu nga balinze ku bannaabwe, bwe baabadde bava mu kivvulu ekimu abaabadde bagenze okugula ebyokulya.

 Nakyagaba gwe baasanze ne Barbie Jay (ku ddyo)

Nakyagaba gwe baasanze ne Barbie Jay (ku ddyo)

OMUWALA gwe baasanze n’omuyimbi Barbie Jay mu mmotoka nga basinda omukwano akudaalidde mukyala mukulu n’amulabula ave mu by’okumutiisatiisa ng’agamba nti omusajja waddembe okusajjalaata.

Rose Nakyagaba olumu yeeyita Nankya ow’e Kyengera ye yabadde n’omuyimbi Barbie Jay (Julius Buyinza) eyayimba oluyimba lwa Njagala kulya Sumbuusa ne Eddie Kenzo.

Bano baabakutte ku Ssande ekiro nga kigambibwa baasangiddwa baliira ‘sumbuusa’ mu mmotoka ye ekika kya Mark II.

Barbie Jay eyabadde aggyeemu essaati amaaso gaamumyuse n’atandika n’okwogera ebitakwatagana, poliisi y’e Lubaga ekola ku bikwekweto eyabadde mu kulawuna bwe yatuuse ku mmotoka eyabadde yeesunda ng’esimbiddwa ku mabbaali g’ekkubo e Mengo okumpi n’ekitebe kya FUFA.

Mu kubakwata Nakyagaba yafubye okwebikka ffeesi okulemesa abantu okumutegeera.

Omuwala ono gwe twasanze ku Calender Hotel e Makindye bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Barbie Jay ne kye baabadde bakola mu mmotoka, yasoose kutegeeza nti ye muzinyi wa Barbie Jay era mu mmotoka baabadde bawummuddemu nga balinze ku bannaabwe, bwe baabadde bava mu kivvulu ekimu abaabadde bagenze okugula ebyokulya.

Olw’okuba nabadde nzinye nnyo ku siteegi nga nkooye kirabika mu kwekyusa mmotoka yeenyeenyezza, wano poliisi kwe kulowooza nti tuli mu mukwano.”

Ono oluvannyuma yakyukidde mukyala wa Barbie Jay, n’amulabula ave ku by’okumutiisatiisa nti kubanga si mukyala wa mpeta ate alina okukimanya nti Barbie Jay musajja era waddembe okusajjalaata.

Bwe yabuuziddwa oba kino kikakasa nti babadde mu mukwano n’ebyogerwa nti alina enkolagana eyenjawulo ne Barbie Jay okumuyita omuzinyi we bakikola kubuuzabuuza, Nakyagaba yabyegaanyi n’agamba nti alina omwami we ate tasobola kwagala musajja muyimbi olw’embeera zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...