TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ochola aggyeewo ebitongole Kayihura bye yassaawo: Ayongedde okukyusa boofisa

Ochola aggyeewo ebitongole Kayihura bye yassaawo: Ayongedde okukyusa boofisa

Added 21st March 2018

OMUDUUMIZI wa poliisi Martins Okoth Ochola ayongedde okukozesa obuyinza bwe, bw’aggyeewo ebimu ku bitongole bya poliisi Gen. Kale Kayihura by’abadde yassaawo nga birimu abantu be yeesiga.

 Ochola ( ku kkono) ng’ali ne Gen. Kayihura.

Ochola ( ku kkono) ng’ali ne Gen. Kayihura.

Akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigations Department (CID) Grace Akullo y’asinze okufuna mu nkyukakyuka zino kubanga Ochola amuddizza obuyinza n’amaanyi ebyali bimuggyiddwako Kayihura ng’ayita mu kutondawo ebitongole ebinoonyereza ate nga Akullo tabirinaako buyinza.

Ekitongole ekirwanyisa obubbi bw’emmundu ekya Flying Squad kiddiziddwayo mu kitongole ekya CID era Akullo addiziddwa obuyinza obujjuvu ku kitongole kino.

Ng’oggyeeko Flying Squad, ekikulirwa Herbert Muhangi, ebitongole ebirala ebyazzeeyo mu CID kuliko, Special Investigation Unit (SID), ekikulirwa Herbert Wanyoto, Case Tracking Task Force (CTF) ekibadde kikulirwa Mark Odong nga Kayihura yakissaawo okuddamu okwekenneenya fayiro.

Zino ze nkyukakyuka ezikyasinze okubeera ez’amaanyi Ochola z’akoze mu nnaku ttaano zokka bukya Gen. Kayihura amukwasa ofiisi ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga March 15, 2018.

Ekiwandiiko kye yafulumizza eggulo, Ochola yagambye nti atandise omulimu gw’okutereeza poliisi nga yeesigama ku kawaayiro nnamba 6 (1) mu tteeka erifuga poliisi.

Ochola yalagidde ebitongole okuli; ekirwanyisa obubbi bw’ente ekya Anti Stock Theft Unit (ASTU), ekivunaanyizibwa ku mbwa ekya Canine, ekivunaanyizibwa ku nnyonyi ( Air Wing), ekivunaanyibwa ku ggaali y’omukka (Railway Police), ekivunaanyizibwa okukuuma obutonde ( Environmental Police), poliisi y’oku mazzi (Marine), evunaanyizibwa ku by’obulimi ( Agricultural police), ekivunaanyizibwa ku by’obugagga ebw’omu ttaka (Mineral Protection), ekikuuma Pulezidenti (Presidential Protection Group), nga bino byazziddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bikwekweto ekikulirwa Asuman Mugyenyi nga yagasseeko ne poliisi evunaanyizibwa okukuuma ensalo.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta (Oil and Gas), Ochola yakitadde wansi w’ekitongole ekirwanyisa obutujju ekikulirwa Abasi Byakagaba ate ekitongole ekinoonyereza ku misango gy’okukozesa yintaneti (Cyber Crime), kyalagiddwa okukolera wansi w’ekitongole ekinoonyereza ku misango gy’ebyekikugu (Forensics).

Special Operations Unit n’okuketta ekyali kikulirwa Nixon Agasalirwe, Ochola yakitadde wansi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ekikessi ekikulirwa Lt. Col. Ndaura Atwoki.

Ochola yalagidde abakulira ebitongole bino (Directors) okukola alipoota eraga nti ebitongole ne ofiisi ze yatadde wansi waabwe zitandise okukola.

Ochola akyusizza boofiisa

Mu nkyukakyuka endala ze yasoose okulangirira ku Mmande, Ochola yakyusizza abamu ku boofiisa omuli n’abo Gen. Kayihura b’abadde yakasembayo okukyusa nga tannagobwa nga March 4, 2018.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa nga March 19, 2018, Ochola yakyusizza boofiisa 23.

Nga yakakwasibwa poliisi nga March 15, 2018 Ochola yasooka n’afulumya amateeka 12, abaserikale ge balina okugoberera.

Okukola enkyukakyuka, Ochola yalaze nti abaserikale balina amadaala kwe bateekeddwa okubeera okukulira ofiisi okugeza amyuka omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ezekiel Emitu abadde ku ddaala erya wansi wabula nga waliwo abamusingako eddaala b’asinza ofiisi.

Okutereeza kino Ochola yalonze Denis Namuwoza abadde omuduumizi wa poliisi mu Kampala South n’amufuula amyuka omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano kuba abadde asinga Emitu eddaala nga ye yafuuliddwa aduumira poliisi mu kitundu kya Aswa ( Gulu).

Mu nkyukakyuka zino abamu ku baserikale Gen Kayihura be yali akyusizza n’abasindika mu bitongole ebirala okuli; Fadil Kaali eyali aweereddwa eky’omumyuka w’akulira ekitongole ky’amafuta baamuzzizzaayo okukulira poliisi ekkakkanya obujagalalo nga amyukibwa Steven Tanui eyali aweereddwa eky’omumyuka w’omuduumizi wa poliisi enzibizi.

Abalala ababadde bakyusiddwa ye, Richard Edyegu eyali aggyiddwa mu kitongole ekigulira poliisi ebintu nga bamututte mu ofiisi ye Ochola yamuzzizzaayo okumyuka akulira ekitongole kino ne Anne Tusiime n’azzibwayo mu kitongole kye kimu okukulira eby’okuzimba.

Ochola era yakyusizza Abasi Byakagaba abadde akulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku mafuta n’aweebwa okukulira ekitongole ekirwanyisa obutujju era ekitongole ky’amafuta n’akissa wansi we.

Christopher Kasalawo, Gen Kayihura gwe yali awadde obuvunaanyizibwa okukulira poliisi ekkakkanya obujagalalo Ochola yamufudde amyuka ekitongole ekivunanyizibwa ku mafufa, Henry Tukahirwa yatwaliddwa okumyuka akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abasirikale, Bazil Mugisha yafuuliddwa amyuka ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka kye yakulirako nga kikyali wansi w’ekitongole ekivunaanizibwa ku bikwekweto.

Timothy Halango yatwaliddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa okuteekerateekera poliisi.

Lawrence Nuwabine eyali akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano n’atwalibwa mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi yaggyiddwaayo n’atwalibwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaserikale.

Esther Akwango okulira ofiisi evunaanyizibwa ku nsonga z’abakyala mu poliisi, Sarah Kibwika yafuuliddwa kamisona mu kitongole ky’ebidduka nga y’avunaanyizibwa ku bikwekweeto ate Anthony Emoding y’avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu kitongole kino.

Agapitus Ecotu yaggyiddwa mu kitongole kya poliisi ekikkakkanya obujagalalo n’atwalibwa okukulira ebikwekweto mu kitongole kivunaanyizibwa ku mafuta.

Ochola era yafunye omuyambi we ku by’amateeka nga ye Alfred Mirondo gwe yaggye mu poliisi erwanyisa obubbi bw’ente.

Paul Kakamba yafuuliddwa omuduumuzi wa poliisi mu Kampala South, Stephen Onencan yaggyiddwa mu kitundu kya Sezzibwa n’atwalibwa okuduumira poliisi mu Kidepo, Stephen Kamar yaggyiddwa e Bushenyi n’atwalibwa okukulira poliisi y’e Kapelabyong mu Amuria ne Frank Kyahurwa yaggyiddwa mu ofiisi y’omuduumuzi wa poliisi n’atumibwa ku kitebe ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli.

Ochola yalagidde abaserikale okugenda gye yabatumye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...