TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte eyatomera owooluganda lwa Magara n'amutta

Poliisi ekutte eyatomera owooluganda lwa Magara n'amutta

Added 21st March 2018

POLIISI y’e Kira ekutte Richard Were ow’e Namugongo, agambibwa okutomera Maureen Kobusinge nga March 15, 2018 eyali omukozi w’ekitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation ku ttabi ly’e Kyaliwajjala n’amuttirawo bwe yali ava e Naalya ng’adda e Kyaliwajjala.

Kobusinge n'omwana we gwe yalese.

Kobusinge n'omwana we gwe yalese.

Were okukwatibwa kiddiridde poliisi y’ebidduka okusooka okubowa emmotoka nnamba UAQ 442V n’egissa ku poliisi e Kira oluvannyuma lw’okukola akabenje nga ye adduse.

Oluvannyuma poliisi yagenda mu kitongole ky’emisolo (URA) ne bamukebera amannya ne bamuketta okutuusa lwe bamufunye.

Were agamba nti tekyali kigendererwa kye okutta Kobusinge.

Bakyanoonyereza.

Owooluganda lwa Suzan Magara emmotoka emutomedde n'emutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...