TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofi isa alaze engeri abatemu gye baawamba omuwala ne bamutta

Ofi isa alaze engeri abatemu gye baawamba omuwala ne bamutta

Added 22nd March 2018

Ofi isa alaze engeri abatemu gye baawamba omuwala ne bamutta

OFIISA wa poliisi eyakwata abasajja abagambibwa okuwamba omuyizi wa S6 owa St. Mark e Namagoma ne bamutta oluvannyuma lw’abazadde okugaana okubawa ssente ze baasaba annyonnyodde kkooti engeri gye baakwatamu abantu bano.

Namazzi yali muwala wa Godfrey Lwanga nga nnyina ye Maimuuna Namatovu abatuuze b’e Nabbingo. Bendict Odyek okuva ku kitebe kya poliisi e Naggulu naye nga okutemula kwa Joan Namazzi we kwabeererawo yali akola mu kitongole ekinoonyereza ku poliisi y’e Katwe yawadde obujulizi mu kkooti y’omulamuzi Lydia Mugambe obulaga engeri gye baakwatamu abantu abali ku musango guno.

Odyek agambye nti, nga March 19, 2014, baamukwasa omulimu gw’okunoonyereza ku masimu agaakozesebwa abatemu abaali bawambye ere ne batta Namazzi nga kuno kwaliko eya Namazzi gye yalina nga bamuwamba n’ey’omuwala eyali ava e Kiboga gye baakozesanga okukubira abazadde ba Namazzi nga basaba ssente.

Mu kunoonyereza kwe baakola baakizuula nga waliwo omuwala (amannya galekeddwa) eyali ava e Kiboga ng’alina omugugu n’asanga omusajja ku ppaaka empya mu Kampala. Omusajja ono yeefuula amuyambako okumufunira emmotoka ezaali zimutuusa mu kifo gye yali agenda kyokka bwe baatuuka mu ppaaka y’ omu Kisenyi omusajja ono n’abula n’omugugu guno .

Mu mugugu guno ogwabula mwalimu essimu ng’eno gye baakozesa okukubira maama wa Namazzi nga bamusaba ssente basobole okubaddiza muwala waabwe gwe baali bawambye kyokka waliwo ennamba ya MTN 0784629610 gye baasindikira abazadde be okusindikako ssente ze baali beetaaga.

Baanoonyereza ku ssimu eno ne bakizuula ng’essimu eno yali mu mmanya ga Aisha Nakabugo kyokka bwe baakwatagana n’ekitongole kya MTN nga banoonyereza ku masimu agaakubibwa eri bazadde b’omugenzi baakizuula nti waaliwo ennamba endala 0784078269 nga eno yakozesebwako mu ssimu y’omuwala w’e Kiboga gye baamubbako era nga yali ya Alloysius Semanda omu ku basibe.

Ennamba zino ebbiri 0784629610 ne 0784078269 zaakozesebwa wakati wa March 19, ne 20, 2014 nga bino by’ebiseera Namazzi we baamuwambira ne bamutta.

Odyek agambye nti, baakwata Kamada Mugabi ng’ono yabalagibwa omuwala w’e Kiboga gwe yagamba nti ye yamubbako omugugu omwali essimu gye baakozesa mu butemu.

Mugabi yabatwala ewa Umar Mwanje ng’ono gwe yaguza essimu eyali mu mugugu. Mwanje yakkiriza nti essimu eyo yagigula n’amala nayo ennaku ssatu naye n’agigunza omuntu gw’atakyajjukira era ekyamukwasa ne bamuteeka ku musango guno kyava ku kulemwa kuleeta ssimu abatemu gye baakozesa.

Odyek ayongedde n’ategeeza nti essimu y’omuwala ow’e Kiboga gye babbira mu mugugu eyakozesebwa mu butemu baalemwa okugifuna n’ey’omugenzi Namazzi gye yali nayo nga bamuwamba Guddamu March 27, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.