TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomali yagula ettaka lya Mabira ku kakadde kamu

Omusomali yagula ettaka lya Mabira ku kakadde kamu

Added 22nd March 2018

Omusomali yagula ettaka lya Mabira ku kakadde kamu

NNANNYINI kkampuni y’amafuta eya Hared Petroleum Uganda Ltd. afootookedde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka bwe bamulaze maapu ng’ettaka lye yagula okuzimbako essundiro ly’amafuna lya kibira kya Mabira.

Yawuniikiridde ng’Omulamuzi amulaze maapu y’ettaka eriri ku bbulooka 284 poloti 27 nga liri ku yiika ttaano (5.7) e Najjembe ku luguudo lw’e Jinja kyokka ng’ettundutundu liri ku ttaka lya Mabira mu disitulikiti y’e Buikwe.

Bashir Musa Yusuf yabadde mu kakiiko ng’annyonnyola ku ngeri gye yafunamu ettaka lino. Ng’ali ne baganda be; Nordeen Musa, Hussein Musa ne Yahay Musa baagula ettaka lino mu 2012.

Kyokka ekitongole ky’ebibira (NFA) nga kikulemberwa Machael Ojja Vullo ne babalemesa okulitwala. Bashir yakozesa bbulooka w’ettaka Charles Mugoya okufuna ekitundu n’alisaba okuva mu lukiiko lw’ebyettaka ku disitulikiti e Buikwe gye yasasula ssente 1,050,000/-.

Olwalabye ebiwandiiko n’akkiriza nti, kituufu baamufera. Ojja avunaanyizibwa ku ttaka ly’ebibira lye baataliza, ye yasoose mu kakiiko n’ategeeza nti, nga March 11, 2013 yali awo ng’alaba abantu mwenda bazze okutandika okusaawa ekibira kwe kukunga banne ne babakwata ne babatwala ku poliisi e Najjembe oluvannyuma ne babongerayo e Lugazi gye baabaggulirako omusango gw’okusaalimbira ku ttaka ly’ebibira n’okutema emiti.

Munnamateeka w’akakiiko John Bosco Suuza yabuuzizza Bashir oba ddala bw’apimamu alaba nga ssente 1,050,000/- ze yasasula zigya mu ttaka lye yagula yiika 5 n’obutundu 7. Yayanukudde nti ekiseera we yagulira zaali nnyingi nnyo. Baamubuuzizza lipooti eyakolebwa omupunta ekakasa by’ayogera nti lino ssi ttaka lya Mabira n’ategeeza nti yalagira balipunte era omupunta yamutegeeza nti, teririna buzibu.

Kyokka bino byonna byabadde mu bigambo nga talina bukakafu. Ojja bwe yabadde annyonnyola akakiiko yategeezezza nti, Bashir yagenda ku poliisi ne bamuggulako emisango gy’okutulugunya abakozi be era ne bawandiikira bakama be nga babategeeza nga bw’abakaluubirizza ng’alemesa emirimu gyabwe. Ruhindi yabuuzizza Ojja nti bw’aba ng’akola nnyo lwaki ettaka ly’ebibira ebirala nga Kajjansi ne Kimaka waliwo abalirinako ebyapa.

Yategeezezza nti balina abakugu n’abakozi abasobola okukuuma ebibira bino naye ssente babawa ntono nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng'ali mu kkooti.

Ssaabalamuzi Owinyi Dollo a...

MUNNAMATEEKA Hassan Male Mabiriizi asitaanidde mu kkooti ey’oku ntikko ng’agezaako okukkirizisa Ssaabalamuzi Alfonse...

Abamu ku bakulira amasomero g'obwannannyini nga bava mu lukiiko.

Abakulira amasomero g'obwan...

ABAKULIRA amassomero g’obwannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne Gavumenti okuggulawo amasomero gaabwe n’okutandika...

Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Amyuka RDC w'e Kasangati ag...

Bya Moses Nyanzi  OMUMYUKA wa RDC w'e Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba  agumizza abatuuze...

Abamu ku bantu abaliko obulemu ne bulangiti ze baafunye.

Abakulembeze b'abaliko obul...

Omumbejja Mazzi, yategeezezza nga mu Wakiso bwe balina ekizibu ky'abantu abeerimbika mu baliko obulemu ng’ebintu...

Ronald Balimwezo Mmeeya w'e Nakawa ng'ayogera eri bakkansala b'e Nakawa mu lukiiko lwa kanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ate ku ddyo ye Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanidde Gavt ku nkaaya...

'Ensonga ey'ensalo beetaaga okugikolako mu bwangu okusobola okugonjoola obuzibu bw’entalo zino kubanga kino kizibu...