TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalabikidde mu katambi ng'akuba omwana akwatiddwa

Eyalabikidde mu katambi ng'akuba omwana akwatiddwa

Added 22nd March 2018

Eyalabikidde mu katambi ng'akuba omwana akwatiddwa

 Kimuli ( ku ddyo) ne mutabani we. Ku kkono ye Kaddu jjajja w’omwana

Kimuli ( ku ddyo) ne mutabani we. Ku kkono ye Kaddu jjajja w’omwana

POLIISI ekutte omusajja eyalabikidde mu katambi ku mikutu gya yintaneeti ng’akozesa obukambwe obuyitiridde okukangavvula mutabani we. Daniel Kimuli, makanika wa pikipiki e Kamwokya ku siteegi ya Kasasiro ng’abeera Kyebando - Nsooba ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’okulabikira mu katambi ng’akuba mutabani we Jeremiah Makubuya 5, bwe yabadde ayitiddwa ku ssomero okumubonereza.

Kimuli oluvannyuma lw’okukwatibwa poliisi yategeezezza ng’abasomera ku ssomero lya Marto Nursery School e Kamwokya ku Mawanda Road bwe baamukubidde essimu ne bamusaba okugenda ku ssomero gye baamutegeerezza ng’omwana bwe yabadde ababuzeeko era abaserikale be baamuzudde ne bamuzzaayo ku ssomero.

N’agamba nti bwe yabuuzizza omwana ekyamuggye ku ssomero n’amutegeeza nga bwe yabadde agoberera mukulu we ali ku ssomero eririranyeewo.

Kimuli yagambye nti abasomesa baamusabye okukangavvula omwana mu lujjudde nga baagala n’abalala bamulabireko. N’agamba nti yabadde ayagala ku mukuba ku kabina kyokka bwe yalwanye n’amukuba amagulu nga teyategedde baamukutte mu katambi nga yeekanze okukalaba nga kasaasaanye.

Jjajja w’omwana Joseph Kaddu yasabye poliisi okusonyiwa mutabani we n’ategeezza ng’okukuba omwana bw’ataakikoze mu mutima mubi wabula yabadde ayagala kumukangavvula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo