TOP

Paasita omufere awambye omwana n'asaba ensimbi

Added 22nd March 2018

Paasita omufere awambye omwana n’asaba ensimbi

POLIISI y’e Bweyogerere ng’eri n’abatuuze ekutte Paasita agambibwa okuwamba omwana n’asaba abazadde ssente okumuyimbula.

David Muwumuza 37, nga yeeyita Nabbi omutuuze w’e Ntebe ng’alina ekkanisa eyitibwa Full Gospel Church e Kiyanga mu disitulikiti y’e Mitoma yakwatiddwa oluvannyuma lw’okubuzaawo omwana Catherine Biribwa 3, n’ekigendererwa eky’okuggya ku bakadde be ensimbi.

Moureen Nabwire omutuuze w’e Bweyogerere Central nga ye maama w’omwana eyabula agamba muwala we yabula wiiki 2 emabega ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi nga yali azannya ne banne.

Nabwire agamba nti, batambudde ebyalo ebiwerako ne ku poliisi ez’enjawulo okuli ey’e Bweyogerere, Kirinnya ne Kireka wabula omwana n’abula. Nabwire ayongerako nti, ng’omwana yaakabula wiiki mu wiiki eyasooka yafuna essimu okuva ew’omuntu gw’atamanyi ng’amugamba nga bw’ali Nabbi, era ng’asobola okumusabira omwana we n’alabika.

Ono yamusaba ajje ewuwe boogeremu n’akkiriza. Olwo Muwumuza kwe kujja ewuwe n’amusabira n’amutegeeza nga’omwana bwe yaliko gye baamuwambira e Busia ng’abamulina baagala kumusuula mu nnyanja. Nabwire agamba Muwumuza yamusabira olwamala n’amuwa amazzi ng’ataddemu evvu n’amulagira agamansire mu nnyumba nga bw’alaamiriza omwana ajja kulabika.

Olwamansira amazzi kitaawe w’omwana ekiro n’atabuka ng’alogootana ng’omwana we bwe bamusuula mu nnyanja era alaajana. Enkeera baakubira paasita n’abalagira banoonye 50,000/- abalagirire omwana gy’ali.

Ku Mmande, Muwumuza yakubidde maama w’omwana essimu n’amusaba amusindikire ssente 20,000/- ezimuggya e Ntebe amutuukeko ayongere okumusabirako n’okumwongera okumubuulira ebikwata ku muwala we.

Maama w’omwana olwamaliriza okwogera ne Muwumuza n’ategeezaako banne okuli Eric Musaazi ssentebe w’abavuzi ba taksii ku steegi ya Namboole Kayembe, Bypass abaakolaganye ne poliisi okukwata Muwumuza ng’azze okunona ssente. Muwumuza bwe yatuusiddwa ku poliisi e Bweyogerere eby’okuwamba omwana nabyegaana n’aggalirwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okuzuula omwana ono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...