TOP

'Essimu bw'ekubulako tetukuwa layini ndala'

Added 22nd March 2018

‘Essimu bw’ekubulako tetukuwa layini ndala’

 Godfrey Mutabaazi

Godfrey Mutabaazi

EKIRAGIRO ky’ekitongole ekiruh− hamya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communication Commission (UCC) kye kyawadde kkampuni z’amasimu obutaddamu kutunda layini za ssimu wadde okuwa ababbiddwaako essimu zaabwe layini endala, kitabudde Bannayuganda ne balaajanira Gavumenti ebataase.

Oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Susan Magara eyali omubazi w’ebitabo mu kkampuni ya Bwendero Dairy Farm (BDF) gwe baawamba nga February 7, 2018 ne baggya obukadde 700 ku kitaawe ne bamala ne bamutta nga February 27, UCC yalagira kkampuni zonna obutaddamu kutunda layini z’amasimu mpya.

Era yabalagidde obutaddamu kuwa muntu yenna layini ne bw’aba ng’abuliddwaako essimu ye okutuusa nga kkampuni zimaze okufuna obuuma obusoma densite ne bukakasa nti ntuufu, ebiriko bye bimu ebiri mu kitongole kya NIRA ekivunaanyizbwa ku kugaba densite z’eggwanga.

Dayirekita wa UCC, Godfrey Mutabaazi bwe yali ayogera n’abaamawulire ku kitebe kya UCC e Bugoloobi ku ntandikwa y’omwezi guno yategeeza nti, abantu bonna ababadde batunda ‘airtime’ ne kaadi z’essimu ku nguudo, bawereddwa obutaddamu kuzitunda. Abatemu, baakozesa layini z’essimu ezitali mpandiise okukubira aba famire amasimu nga babasaba ssente ekyanyiza abafamire ne bateeka UCC ku nninga ennyonnyole layini z’essimu zino gye zaava kuba tezaali mpandiise. Mu Kampala mwokka kirowoozebwa nti buli lunaku essimu ezitakka wansi wa 10 ze ziroopebwa ku poliisi nga zibbiddwa.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, omuntu abbiddwaako layini y’essimu, alina okugenda ku poliisi eri mu kitundu we bagimubbiddeko n’agitegeeza ne bamuwa foomu (To Whom It May Concern) n’agenda ku kkampuni gye yaggya layini ne bamuwa endala.

Kyokka bino, UCC yabiggyeewo era kati ababbibwako amasimu, balina okulinda okutuusa nga kkampuni zifunye obuuma obusoma densite z’eggwanga ne basobola okufuna endala.

Shirat Namayanja, akolera ku katale k’e Nakasero gwe babbako essimu ku nkomerero ya wiiki ewedde yagambye nti, essimu ye kw’abadde akolera bizinensi ze zonna, abadde akubira abantu b’asuubulako ebirime nabo nga bamukubira nga n’abamu ku bakasitoma, ssente baziyisa ku ssimu kyokka kati egenda kuwera wiiki nnamba okuva essimu bwe baagimubbako nga tannaba kufuna layini mpya.

“Okumala olunaku lulamba nga tolina ssimu kitegeeza bizinensi yo eba eddiridde, kati obuuma bwe bagamba bagenda kubuleeta ddi? We bunnajjira ng’ekibuga tekinemye nga zize mu kyalo,” Namayanja bwe yategeezezza. Yagambye nti waakiri, bandibadde basaba ebbaluwa ya LC omuntu gy’asula, bagatteko eya poliisi ne bwe kiba kyetaagisa poliisi etuuke mu kifo gy’abeera oba gy’akolera n’oluvannyuma bamuddizzeewo layini okusinga okulumya abantu.

Ali Lusimbo, musuubuzi ku ppaaka enkadde, yagambye nti, Gavumenti okulwanyisa obumenyi bw’amateeka, terina kutulugunya bantu kubanga esobola okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’ebumalawo ng’abantu basigadde basannyufu.

Omwogezi wa kkampuni ya Airtel, Faith Bugonzi yagambye nti, bazze balanga era bakyalanga okusinziira ku mateeka ga UCC ge yabawadde nga babagaanyi okuddaamu okutunda layini wadde okukolera omuntu layini empya ng’essimu emubuuzeeko.

Yagambye nti, ekintu kyokka kye bakola, omuntu bw’aba alina kaadi ye ng’ayagala bamukyu sizeemu okudda ku ya 4G eya yintaneti edduka okusinga ku 3G kino basobola okukimukolera.

Val Okecho, omwogezi wa kkampuni ya MTN yagambye nti, amagezi g’awa abantu, kukuuma layini za ssimu zaabwe, bulungi ddala. “Singa kiba kisoboka, bw’oba olina w’ogenda nga tewekakasaawo, kyandibadde kya buvunaanyizibwa essimu okugireka awaka kubanga tekikyasoboka kufuna layini mpya mu budde buno.” Okecho bwe yategeezezza Fred Otunu, amyuka omwogezi wa UCC, yagambye nti, kino Bannayuganda balina okukigumira kubanga kya kaseera buseera obuuma obusoma densite z’eggwanga bwe bunaabeera nga buzze embeera ejja kutereera abantu baddemu okufuna layini zaabwe nga bwe kibadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono