TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muninkini wa Kaweesi alumirizza Benz n'ayogera b'akolagana nabo

Muninkini wa Kaweesi alumirizza Benz n'ayogera b'akolagana nabo

Added 23rd March 2018

Muninkini wa Kaweesi alumirizza Benz n’ayogera b’akolagana nabo

 Benz lwe yateebwa mu kkomera n’ayingira mu poliisi

Benz lwe yateebwa mu kkomera n’ayingira mu poliisi

MUNINKINI wa Kaweesi eyakwatibwa ekitongole ky’amagye ekiketta munda mu ggwanga, (ISO) mu September wa 2017, alumirizza omusajja Ashiraf Mushabe oluusi eyeeyita Chris Tumushabe oba Christ Tumushabe ng’ate mu poliisi abadde yeeyita Commander Benz.

Christine Mbabazi Muhooza oluvannyuma lw’okulaba ekifaananyi kya Benz mu Bukedde, yategeezezza omusasi w’olupapula luno nti, Benz abadde aludde ng’amulaba ng’ateetera n’abamu ku banene mu bitongole b’ebyokwerinda.

Yagambye nti, waliwo abantu bangi Benz b’abadde akolagana nabo ng’abamu bali mu bitongole bya Gavumenti ebikessi era balina ennyumba e Kyengera gye babadde bakolera pulaani zaabwe zonna ez’obumenyi bw’amateeka. “Benz tali yekka bw’aba yakwatiddwa n’abalala b’abadde akolagana nabo balina okukwatibwa”, Mbabazi bwe yategeezezza.

Yagambye nti, ekibinja ky’abantu Benz b’akolagana nabo, babadde bakolagana bulungi ne Sobbi we yabeerera mu bikolwa by’obubbi nga tannayingira ISO kutandika kukola nayo. Yagambye nti, n’omusajja Col. Kaka Bagyenda gwe yatwala okumulumiriza bwe yali amusibidde mu Tal Cottages e Kabuusu, Rasta gwajjukira nti yalina ebiviiri n’amaaso amamyufu, abadde akola ne Benz.

Rasta yalumiriza nti, Mbabazi ng’ali n’abakungu mu poliisi, baaluka olukwe lw’okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi era baasisinkana ku Kati Kati Restaurant ku Lugogo Bypass mu kiro ekyakeesa March 17, Kaweesi lwe yatemulwa.

 

Rasta yalumiriza nti, naye mu lukwe yalimu era Mbabazi yaweebwa omulimu gw’okuketta entambula za Kaweesi nga bw’ategeeza abatemu era bwe yatuuka mu buduuka bw’e Kulambiro we baamuttira, ye yababuulira ne bamutta. Wadde Mbabazi bino abyegaana, Rasta amulumiriza nti baamuwa ne ssente obukadde 200 okuva eri omukungu wa poliisi omu okumaliriza ddiiru eno.

Benzi yakwatiddwa ku ntandikwa y’omwezi guno oluvannyuma lwa ISO okufuna amawulire nti yali mu lukwe olwatta Kaweesi n’aggalirwa mu nkambi y’amagye e Mbuya. Benz, yali mu bayeekera ba ADF ng’akola ng’akulira abalwanyi ng’era yabayamba okutaputa ennimi naddala okuva mu Lungereza okudda mu Luwarabu n’Oluswayiri wabula oluvannyuma yavaayo ne yeegatta ku Gavumenti n’ayingira ne mu ggye erikuuma Pulezidenti.

Oluvannyuma yakwatibwa ng’abbye doola 50,000 ku Muzungu eyali azze okusuubula diamond ne gold e Congo ng’amutadde ku mudumu gw’emmundu. Benz yakwatibwa n’aggalirwa e Luzira Nixon Agasirwe gye yamuggya ku kakalu ka kkooti n’amuyingiza mu poliisi mu 2014 mw’abadde n’okutuusa kati we baamukwatidde.

Ono, abadde akola ebikwekweto eby’amaanyi mu poliisi era yali akolera wansi wa Nixon mu Special Operations Unit (SOU) nga balina ne ofiisi ku Clement Hill e Kololo. Dayirekita wa ISO Col. Frank Kaka Bagyenda yategeezezza Bukedde nti, Benz balina bye bamubuulirizaako ebiwerako wabula tebannatuuka ku kinyusi kya kunoonyereza kwabwe n’ategeeza nti, yabadde tasobola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...