TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte omusiguze ababadde mu loogi abalala ne babuna emiwabo

Bakutte omusiguze ababadde mu loogi abalala ne babuna emiwabo

Added 24th March 2018

OMUKAZI adduse n’awalampa kabangali ya Poliisi ebadde esimbye ku oluguudo ng’ayagala poliisi emutaase ku bba abadde amugoba ng’ayagala okumukuba oluvannyuma lw’okumusanga n’omusajja mu loogi.

 Mukoya (mu bimyufu) ng’alumiriza mukazi we (ku bangali) obwenzi.

Mukoya (mu bimyufu) ng’alumiriza mukazi we (ku bangali) obwenzi.

Poliisi eyanguye okugenda mu loogi, kyokka omusiguze abadde alwana ne nnannyini mukazi bw’alabye Poliisi n’adduka wabula engoye n’essimu n’abireka era poliisi by’esobodde okugenda nabyo.

Nnannyini mukazi, Erickson Mukoya abadde awejjawejja ategeezezza poliisi ng’omusiguze bwamukubye n’amuyuliza n’engoye.

Mu kulwanagana omusiguze agezezzaako okumwettakkuluzaako anunule engoye ze, nnannyini mukazi zaabadde akutte.

Bwe biremye n’adduka ng’ali mu mpale yokka. Olutalo lubadde ku loogi eyakazibwako erya Kakajjo ng’eno Mukoya, omutuuze w’e Kikawuula gye yasangirizza mukyalawe Safiina Nannyanzi n’omusiguze nga bagudde eri ekikoowukoowu.

Mukaya mu bukambwe obungi yategeezezza Poliisi nti amaze ekiseera ng’afuna olugambo nti mukyala we alina omusajja ava ku kyalo Kikambwe-Kakubansiri amutwala nga taliiwo, era naye n’alinda lwalimukwata lubona.

Ayongeddeko nti abadde ku mulimu mbega we n’amutegeeza nga bwamaze okubalinnya akagere era nti bayingidde mu loogi naye kwe kujja. Asanze bawujjadde ng’omukyala ali ku bbiya.

Omukyala yasoose kwekaza, wabula bwalabye bba ataamye kwe kudduka nga bwakuba enduulu abantu bamutaase, wabula abalala ababadde mu loogi eno nabo baddusse buddussi.

Mukoya agambye nti alabye mukyalawe ng’adduka ye n’asigaza omusiguze kyokka oluvannyuma amwesimattuddeko ng’amukubye ebikonde n’adduka nga poliisi etuuse.

Mukaya asigazza engoye okubadde vesiti,omujoozi ogwa bbululu wamu n’essimu ey’omungalo Nanyanzi abadde ku kabangali ya Poliisi nga yeebisse ku maaso ng’eno abantu ababadde bakung’anye bwe bamwogerera amafukuule n’okumulangira obwenzi.

Nanyanzi yatwaliddwa ku Poliisi e Lugazi ng’eno Mukoya gy’agguliddewo omusango gw’okumukuba n’awera nga bw’atagenda kuddamu kuwasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu