TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. eggyeeko Abasiraamu emisango ne bagaana: 'Mulina okuleeta obujulizi obutuluma kuba mwe mwatuwawaabira'

Gavt. eggyeeko Abasiraamu emisango ne bagaana: 'Mulina okuleeta obujulizi obutuluma kuba mwe mwatuwawaabira'

Added 26th March 2018

OMUSANGO gw’Abasiraamu okulya mu nsi olukwe gukalubye. Abajulizi Gavumenti bwe baagibuze okulumiriza Abasiraamu 19 okuli ne mulamu wa Dr. Aggrey Kiyingi, kwe kusalawo emisango egibaggyeko era n’erangirira nti tebakyalina musango gwonna.

 Abamu ku Basiraamu abavunaanibwa okulya mu nsi olukwe nga bava mu kkooti.

Abamu ku Basiraamu abavunaanibwa okulya mu nsi olukwe nga bava mu kkooti.

Kyokka omuwaabi wa Gavumenti byamuweddeko Abasiraamu bano bwe baagaanyi eky’okubaggyako emisango! Baategeezezza kkooti nti bbo emisango bakyagyetaaga era Gavumenti ereete obujulizi kuba ye yagibassaako.

Abasiraamu 19 abakulemberwa mulamu wa Dr. Aggrey Kiyingi amanyiddwa nga Aisha Nakasibante ne Murta Mudde Bukenya muganda wa Sheikh Muhammad Yunus Kamoga baakwatibwa mu 2014 nga kigambibwa nti bano babadde bakolagana n’abayeekera ba ADF okutendeka abavubuka basobole okuggyako Gavumenti.

Omuwaabi wa gavumenti, Thomas Jatiko yazze n’ekiwandiiko okuva ew’omuwaabi wa gavumenti omukulu nga kitegeeza nti Gavumenti eggye enta mu kuvunaana Abasiraamu bano.

Eyabadde asuubira Abasiraamu okucacanca ate byamuweddeko bwe baayise mu looya waabwe, Dalton Opwonya ne bategeeza kkooti nti kikafuuwe tebagenda kukkiriza Gavumenti kubaggyako misango, erina okumaliriza kye yatandika.

Opwonya yagambye omulamuzi Wilson Masalu Musene nti Gavumenti okubatwala mu kkooti n’okubasibako okuba abayeekera yali teroota eteekwa okuba yalina obujulizi kati obwo bwennyini bw’eba ereeta ebavunaane n’ekyo kiggwe.

Yayongeddeko nti kino yandiba ng’ekola kakodyo okubaggyako emisango egimu ate bwe baba bafuluma eddemu ebakwate ku misango emirala bbo gye bagamba nti nagyo mipangirire.

Ku Lwokuna lwa wiiki eno, Masalu yalagira oludda oluwaabi okukoma okuleeta abajulizi.

Baali baakaleeta abajulizi 9 bokka nga buli kkooti lw’etuula, ba looya ba gavumenti basuubiza nti oluddako bagenda kuleeta abajulizi abalala babiri oba basatu naye olunaku bwerutuuka nga baleetayo omu oluusi n’obutaleetera ddala ne basaba omusango gwongezebweyo.

Omulamuzi abadde agenda kwetegereza obujulizi obwaleetebwa olwo asalewo oba ng’abalagira okwewozaako oba ng’abejjeereza emisango kyokka oludda oluwaabi terwamuganyizza ne luleeta ebbaluwa ebaggyako emisango, Abasiraamu kye baagaanyi nga bagamba kkooti erina okugumaliriza ne balagira beewozeeko oba okubejjeereza ekiyinza okutegeeza nti oludda oluwaabi lwalemwa okuleeta obujulizi.

Ekiwandiiko kya Gavumenti eky’okubaggyako emisango kyatabudde omulamuzi Musene n’agamba nti, “Kati nange binsobedde era simanyi kya kukola.

Omusango nguvuddemu fayiro kangiweereze akulira abalamuzi ba kkooti enkulu, Dr. Yorokamu Bamwine y’aba asalawo oba agenda ne Gavumenti ky’esazeewo oba okulagira omusango gusigale mu kkooti.”

Wabula Dr. Bamwine ne bw’asalawo nti emisango gibaggyibweko nga Gavumenti bwe yasazeewo, abavunaanibwa tebagenda kuddayo waka kubanga bakyalina omusango omulala ogw’obutujju.

Abasibe bazziddwaayo mu kkomera e Luzira nga bwe balinda ekinaava ew’omulamuzi Dr. Bamwine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...