TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino ebyabadde mu kafubo ka Museveni ne Kagame

Biibino ebyabadde mu kafubo ka Museveni ne Kagame

Added 26th March 2018

PULEZIDENTI Museveni bwe yabadde ayogera ku by’abadde mu kafubo ke ne Paul Kagame owa Rwanda, yakonye ku by’okutta omuwala Susan Magara.

Pulezidenti Kagame (ku kkono) ng’aliko by’annyonnyola munne Museveni.

Pulezidenti Kagame (ku kkono) ng’aliko by’annyonnyola munne Museveni.

Yagambye nti yakubidde essimu Pulezidenti wa South Afrika, Cyril Ramaphosa ku nsonga z’okuzza agambibwa okwetaba mu kuwamba n’okutta omuwala Magara ali mu ggwanga eryo.

Bino biddiridde ebigambibwa nti, Patrick Agaba amanyiddwa nga Pato y’omu ku baali mu lukwe lw’okuwamba n’okutta Magara era nti olwafuna ssente doola emitwalo 20, aba famire ze baawa abaawamba Magara n’adduka nazo e South Afrika.

Pulezidenti yagambye nti, alina bye yakkaanyizzaako ne Ramaphosa kyokka teyayongedde kulambulula nsonga eno.

Yabadde ayogera eri bannamawulire mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe nga yaakamala okusisinkana Kagame eggulo.

Kagame yatuuse ku ssaawa nga 5:00 ez’enkya n’akyaluka ku 9:30 ez’olweggulo. Kagame yayaniriziddwa ku kisaawe e Ntebe,Minisita w’ensonga Ezeebweru Sam Kuteesa.

Kagame ajjidde mu kiseera nga kigambibwa nti waliwo obutakkaanya wakati wa Uganda ne Rwanda.

Kagame bw’ateetaba mu lukuhhaana lwa East Afrika olwali mu Uganda omwezi oguwedde ne kirowoozebwa nti obutakkaanya bwe bwamugaana.

Ate Museveni naye bwataagenze Rwanda mu lukuhhaana lw’okutongoza akatale ak’awamu ak’amawanga aga African Union nga March 21, 2018 ne kyongera okukakasa nti wandibaawo obutakkaanya.

Kyokka abakulu bombi eggulo baakakasizza abantu ba Uganda ne Rwanda nti tewali kakuubagano konna wakati w’amawanga gombi.

Ng’ayanukula ekibuuzo oba waliwo obutakkaanya, Museveni yasoose kunnyonnyola bye baayogeddeko n’agamba nti bakkaanyizza ebitongole by’Ebyokwerinda n’ebikessi okwongera okuwuliziganya okwewala embeera ey’okuteebereza.

“ Tewali nsonga egaana Minisita wa Uganda okukwata essimu n’akubira owa Rwanda singa wabaawo ekibuusibwabuusibwa kubanga kati layini z’amasimu mu Uganda zisoba mu bukadde 23”, bwe yagambye.

N’agattako nti, tewali nnyo buzibu bya byakwerinda wakati wa Uganda ne Rwanda.

Kagame naye yakisimbyeko essira nti, okuwuliziganya kikulu nnyo kubanga kiyamba okuggyawo obuteesigahhana ku njuyi zombi. Yalagidde abavunaanyizibwa ku byokwerindsa e Rwanda okwongeramu amaanyi ku kuwuliziganya n’aba Uganda.

Ku bigambibwa nti Rwanda yeemulugunya ku bantu baayo abatulugunyizibwa mu Uganda, Museveni yannyonnyodde nti ensonga eyo Kagame yagimutunuzaamu nga basisinkanye mu Addis Ababa ekya Ethiopia gye buvuddeko. Era yakoze okunoonyereza nga bye yazudde yabadde amaze okubyogera ne Kagame.

Museveni era yannyonnyodde ku Banyarwanda abaakwatiddwa mu Uganda nga beeyise bannaddiini abagenda e Burundi wabula ne bazuulibwa nga kye baali beeyita si kye kituufu.

Kigambibwa nti Abanyarwanda abo baalina enteekateeka ez’okuyeekera Rwanda era baasimbiddwa mu kkooti e Mbarara gye buvuddeko ne bavunaanibwa.

Ku bigambibwa nti waliwo Bannayuganda abatandise okugobwa e Rwanda, Kagame yagambye nti ensonga ezimu zitegeerwa bubi kyokka n’asuubiza nti agenda kukinoonyerezaako.

Abakulembeze bombi baayogedde ku butabanguko mu DR Congo obutuusizza omuwendo gw’abanoonyi b’obubuddamu abeeyiwa mu Uganda okweyonger, Museveni n’anenya ekibiina ky’Amawanga Amagatte (UN)nti tekirina kye kikola.

Kagame ye yawadde amagezi ensonga ez’obutebenkevu bwa DR Congo ziteesebweko mu bwangu okwewala abanoonyi b’obubudamu okweyiwa mu Uganda ne Rwanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...