TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa UPDF agobeddwa mu magye lwa kusobya ku muwala

Owa UPDF agobeddwa mu magye lwa kusobya ku muwala

Added 27th March 2018

UPDF egobye omujaasi waayo lwa kusobya mu muwala atanneetuuka bwe yali atumiddwa ku mirimu gy'okukuuma n'okuzza emirembe e Somalia.

 Olinga eyagobeddwa mu magye

Olinga eyagobeddwa mu magye

Bya MARGRET ZALWANGO

Private Rapheal Olinga 38, ye yagobeddwa kkooti y'amagye etuula e Makindye lwa kusobya ku muwala (amannya gasirikiddwa) ow’e myaka 18 enzaalwa ya Somalia gye yali yatwalibwa mu ggye lya AMISOM okukuuma emirembe mu ggwanga eryo.

Kigambibwa nti nga September 19, 2015 e Jameco ku nkambi ya AMISOM yasoberera omwana ono bwe yali alunda embuzi okumpi n'enkambi eno n'amusuula mu musenyu bw'atyo n'amwekakaatitako n'amusobyako.

Oludda oluwaabi nga lukulemberwa Maj. Rapheal Mugisha lwaleese abajulizi bana okuli ne maama w’omwana, Boresheik Muddey Bolonshur Murd bonna ne balumiriza Olinga okuzza omusango guno.

Ssentebe wa kooti y'amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti bwe yabadde asomera Olinga ensala ya kooti , yategeezezza nti ekikolwa Olinga kye yakola kiteeka eggye lya UPDF mu kifaananyi ekibi  ddala ate nga yali muntu eyatwalibwa okukuuma bannansi okufuna eddembe bwatyo ng’asaana abonerezebwe abalala bamuyigirike.

Gutti agambye nti kiswaza omuntu eyaweebwa ogw'okukuuma omuntu ate n'amwefuulira n'amusobyako! N'agamba nti kiba kibi nnyo era asaana abonerezebwe.

Lt. Gen. Gutti yagambye nti wadde ng'omusango guno singa gukusinga osibwa bulamu bwo bwonna wabula ono akyali mu myaka mito, akyayinza okukyusa mu nneeyisa ye.

Yayongeddeko nti wadde puliida wa Olinga, Elizabeth Nassimbwa yasabye omuntu we aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu , ekikolwa kye yakoze kiweebuula nnyo empisa za UPDF ng'eggye ekkuumaddembe erimanyiddwa.

Kkooti era etadde mu nkola emyaka gy'amaze mu kkomera mu nkola nga ssemateeka bw'alagira ng'ono abadde amazeeyo emyaka esatu bw'atyo n'agobwa mu  magye.

Olinga alagiddwa okuwaayo ebyambalo by'amagye mu bwangu atandike obulamu obulala ng'omuntu wa bulijjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.