TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuserikale wa Poliisi atutte Kayihura mu kkooti

Omuserikale wa Poliisi atutte Kayihura mu kkooti

Added 27th March 2018

NGA tegunnawera mwezi bukya Gen. Kayihura agobwa ku ky’okuduumira Poliisi, omusango ogumuvunaanibwa ogusooka gutandise mu kkooti.

 Kiwanuka (ku kkono) ne Mungasa awaabidde Kayihura nga bateekayo omusango mu kkooti.

Kiwanuka (ku kkono) ne Mungasa awaabidde Kayihura nga bateekayo omusango mu kkooti.

Ofiisa wa poliisi yatutte Kale Kayihura mu kkooti ng’amuvunaana okumulemesa okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti ekyamufi iriza obutitimbe bw’ensimbi.

D/AIP Nelson Wetaka Mungasa nga y’akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi y’e Bugolobi y’atutte Kayihura mu kkooti.

Amuvunaana okukozesa obubi wofi isi ye ng’akyali omuduumizi wa poliisi n’amulemesa okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti okukiikirira ekitundu ky’e Tingeyi mu disitulikiti y’e Kapchorwa.

Mungasa yayise mu balooya be aba M/S Kiwanuka Kanyaga and Co. Advocates n’atwala omusango guno mu kkooti ewozesa emisango gy’engassi etuula ku Tweed Towers.

Mu mpaaba ye, agamba nti bwe yali akyakolera ku poliisi y’e Kyambogo nga y’agikulira, yatwala ebbaluwa ye mu ofiisi y’omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Kayihura.

Ebbaluwa yagiyisa mu poliisi ya Jinja Road ng’ayagala awummule poliisi asobole okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti obw’ekitundu ky’e Tingeyi. Ebbaluwa yagiwandiika 27/07/2015.

Agamba nti Kayihura ng’akozesa obuyinza bwe ng’omuduumizi wa poliisi yamugaana okuwummula poliisi era n’awandiikira akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM ng’akategeeza nga Mungasa bw’atannaba kuwummula poliisi era tebalina kumukkiririza kwesimbawo.

Mungasa agamba nti ebbaluwa eno gyeyali awandiise, Kayihura yali alina okugitwala mu kakiiko ka poliisi akeekenneenya empapula z’abaserikale abaagala okuwummula poliisi balabe oba nga asaana okuwummula.

Nti kyokka kino Kayihura yakigaana n’asalawo nga ye omuntu nga talina gwe yeebuzizzaako.

Ayongeddeko nti Kayihura bweyamugaana okwesimbawo, yawandiikira omuwandiisi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ng’ayagala ayingire munsonga zino era naye n’awandiikira Kayihura okumuddamu ku kusaba kwa Mungasa kyokka era Kayihura n’abiziimula okuddamu ebbaluwa eno okutuusa lweyavudde ofiisi eno.

Mungasa agamba nti yayingira poliisi mu mwaka gwa 2003 era agenze alinnya ebitiibwa okutuuka ku kitiibwa kya AIP era nga poliisi yaakagimalamu emyaka 13 bwatyo yali akkirizibwa okuwummula poliisi nga bweyali asabye.

Agamba nti ekikolwa kya Kayihura okumugaana okuwummula poliisi yakikola mu bumenyi bw’amateeka era kibeera kukozesa bubi ofi isi ye ng’omuduumizi wa poliisi era kyatyoboola eddembe lye erimuweebwa ssemateeka okwetaba mu bukulembeze bw’eggwanga.

Mungasa agamba nti ekimututte mu kkooti ayagala kkooti erage obwenkanya nti ddala Kayihura bye yakola byali bimenya mateeka era nga yeetaaga okumuliyirira ku musango guno ne by’eyafi irizibwa nga teyesimbyewo.

Agambye nti ekimuluma kiri nti Kenneth Soyekwo Cheborion omubaka wa Tingeyi ye yali agenda okumunoonyeza akalulu mu kulonda kuno.

Mu kkooti Mungasa agenzeeyo ne looya we Abdurah Kiwanuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...