TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi egenze South Africa okuzza Pato ku by'okutta Magara

Poliisi egenze South Africa okuzza Pato ku by'okutta Magara

Added 28th March 2018

POLIISI esindise abaserikale e South Africa okunona Patrick Agaba ‘Pato’ omu ku basongeddwaamu olunwe ku by’okuwamba omuwala Suzan Magara eyattibwa omulambo gwe ne gusuulibwa e Kitiko okumpi n’e Kigo.

Abaserikale abaatumiddwa e South Africa kuliko; akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano SSP Dale Olal ne SSP Mark Odong nga baasitudde ku Lwokutaano ne Samalie Wakholi okuva mu ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti okulaba nga babawa Pato asobole okuzzibwa mu ggwanga.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yakakasizza okusitula kw’abaserikale bano okugenda e South Africa okwongera okunoonyereza ku musango gw’okuwamba n’okutta Suzan Magara.

“Kituufu waliwo abaserikale abasindikiddwa e South Africa okwongera okunoonyereza ku by’okutta Suzan Magara kuba obujulizi obumu mu musango guno buli eyo”, Kayima bwe yategeezezza.

Ensonda zaategeezezza nti kyokka abaserikale bano basanze emiziziko oluvannyuma lwa Pato okuteekayo okusaba mu kkooti ng’asaba aleme kukomezebwawo mu Uganda ng’ayagala avunaanibwe mu South Africa nti, mu Uganda bayinza okumuwanika ku kalabba singa omusango gumusinga.

Pato ali mu kibinja ky’abavubuka abamansa ssente ekya Rich Gang, yasabye omusango gutandike okuwulirwa wiiki ejja wabula nga waliwo enteeseganya ezigenda mu maaso.

Okukwata Pato kyaddirira ebitongole okuli CMI ne ISO okukola ebikwekweto n’okunoonyereza ne bikwata Ronald Asiimwe ‘Kanyankole’ ne Bob Kibirango ddereeva wa SK Mbuga nga bano be baamuwaayo.

Oluvannyuma lw’okukwata Kanyankole ne Kibirango, CMI ne ISO byatandika okulondoola engeri Pato gy’atambuzaamu ssente n’omukutu gwe ogwa ‘Facebook’ nga bwe bafuna obujulizi ne basalawo okutuukirira poliisi ya South Africa n’emukwata nga March 7 2018.

Abaserkale abaagenze e South Africa babadde basuubirwa okukomawo ku Lwokusatu (leero).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...