TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muzaata bamutaddeko akazito ku musomesa gwe yakubye

Muzaata bamutaddeko akazito ku musomesa gwe yakubye

Added 28th March 2018

SHEIKH Nuhu Muzaata bamutaddeko akazito omusomesa gwe yakubye bw’agenze ku poliisi n’awaaba omusango era ayagala n’okumuliyirira obukadde bw’ensimbi 80 olw’obuvune bwe yamutuusizzaako.

 Omusomesa Ramathan Ssebalamu eyakubiddwa Sheikh Muzaata

Omusomesa Ramathan Ssebalamu eyakubiddwa Sheikh Muzaata

Omusomesa Ramathan Ssebalamu agamba nti yakoseddwa nnyo mu kifuba, omugongo olw’agakonde Muzaata ge yamuggunze era ayagala ku nsimbi zino Muzaata agatteko okugenda ku ssomero okumwetondera mu maaso g’abayizi we yamukubidde olw’okuswazibwa kwe yamutuusizzaako.

Ssebalamu alumiriza Muzaata nti yakozesa omuserikale wa poliisi amukuuma n’amusongamu emmundu olwo n’amulagira ku kifuba okussa omukono ku kiwandiiko nga yeeyama nti tagenda kuddamu kukuba ku muyizi yenna mu ssomero ng’aliko ky’asobezza.

EBIBIINA BIVUDDEYO

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nabo bayingidde mu nsonga eno nga baagala Muzaata aveeyo yeetondere omusomesa ono mu lujjudde olw’okutyoboola eddembe lye n’amukubira mu baana b’asomesa.

Ladislaus Rwakafuzi, munnamateeka amanyiddwa mu kulwanirira eddembe ly’obuntu yagambye nti, “Muzaata kye yakoze eky’okukuba omusomesa kyabadde kikyamu ng’omukulembeze.

Yagambye nti omusomesa eyakubiddwa mukulembeze wa bayizi mu kiti ekyo.

Rwakafuzi yakiraze nti nkola ya Muzaata okutyoboola abakulembeze bw’aba aliko by’atakkiriziganya nabyo noolwekyo ku luno ateekeddwa okukangavvulwa.

Rwakafuzi agamba nti, Muzaata kye yabadde alina okukola nga bakubye omwana we, yabadde alina okugenda ew’omukulu w’essomero n’aloopa era ne biggweera eyo.

James Tweheyo eyali akulira ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU nga mu kiseera kino alina ekibiina ekiruubirira okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza ekya ‘Mwalimu Initiative’ yavumiridde ekyakoleddwa Muzaata.

Yategeezezza nti ekituufu omusomesa yakoze ensobi okukuba abayizi, kyokka ate Muzaata kye yakoze kyayiseewo nnyo n’agamba nti; “Si kituufu nti omwana bwe batamukuba tayiga, era abasomesa balina okweggyamu enkola eno enkyamu. Sheikh Muzaata yeerabidde nti, ensobi ebbiri temuvaamu kituufu”.

Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa bwe yabuuziddwa kye bagenda okukolera Muzaata ng’abamutwala mu Busiraamu yagambye nti, yabadde ali mu kuziika, nga talina ky’ayinza kubyogerako.

MUZAATA BAMUGAANYI OKUSAAZA JUMA

Akulira olukiiko olufuzi olwa Bilal Islamic Centre, Haji Muhammed Kaweesa yaweerezza Muzaata ebbaluwa emugaana okusaaza Juma wiiki eno okutuusa ng’ensonga zino zimaze okugonjoolwa.

Abakulira Bilal baategeezezza nti, beesanze nga tebasobola kukkiriza Muzaata kusaaza baana n’abantu abalala naddala abo abaalabye engeri gye yeeyisizzaamu ng’akuba omusomesa kye baavudde basooka okumuyimiriza ensonga ze zimale okwetegerezebwa.

Kyokka Muzaata yategeezezza Bukedde ku Mmande nti si kituufu nti yakubye omusomesa nga ye atunula butunuzi, ekituufu kiri nti baakubaganye kuba omusomesa yabadde muvubuka era ye Muzaata ye yasinze n’okukosebwa kuba yakubiddwa nnyo.

Yagambye nti abadde amaze ekiseera ng’alabula abasomesa ba Bilal Islamic e Bwaise bakomye okukuba abayizi kyokka nga tebawulira. Yaweze nti bwe bataasuule kibooko tebajja kufuna mirembe.

POLIISI EYISE MUZAATA

Ronald Wotwali, aduumira poliisi y’e Kawempe yagambye nti, baamaze dda okuyita Sheikh Muzaata akole sitatimenti ku musango gwe baamuloopye.

Alina okukola sitatimenti ku byabaddewo n’oluvannyuma beebuuze ku muwaabi wa Gavumenti abawabule ku misango egiyinza okumuggulwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...